TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmotoka yatomera mutabani wange ku lwa December 24 n'emwasa omutwe

Mmotoka yatomera mutabani wange ku lwa December 24 n'emwasa omutwe

Added 23rd December 2018

Mmotoka yatomera mutabani wange ku lwa December 24 n’emwasa omutwe

WALIWO embeera lw'ekuyitirirako n'otuuka n'okwebuuza oba ddala Katonda gy'ali, era ddala bw'aba gy'ali aky'akumanyi anti ng'olaba buli kizibu kyetuumye ku ggwe, embeera bw'eti kumpi yali etuuse ku buli muntu.

Kyokka bw'okkakkana n'otunula Katonda gy'akuggye ne by'akuyisizzaamu oddamu essuubi n'omanya nti bw'aba yakuyisa wali, na wano akyasobola okukuyisaawo. Irene Mukasa, okuva mu disitulikiti y'e Kalungu attottola olunaku lwe yalaba omukono gwa Katonda nga guggya mutabani we mu kufa. "Ndi mukyala Mukrisitaayo era ndi muweereza mu kkanisa, sirina kintu kimpa maanyi kusinza Mukama nga buli lwe nzijukira enjega eyantuukako nga December 24, 2005. Namala bulungi okuwa abaana bange emmere ku ssaawa nga 9:00 ez'emisana era buli omu n'adda ku bibye. Abamu baagenda okuzannya, abalala baasigala awaka ate nze nadda mu kugolola ngoye kuba twali twetegekera mazaalibwa ng'enkeera tulina okukeera okusaba.

Mba nkyagolola abaana abaali batera okuzannya ne mutabani wange Dennis Zziwa,11, bajja baleekaana ne bantegeeza nga mutabani wange emmotoka bweyali emusse. Buli kye nnali nkutte nakisuula eri ne nziruka ku luguudo gye baηηamba gye yali afi iridde.

Nagenda okutuuka amaaso nagakuba ku muwala wa muliraanwa wange Pauline Nalwanga, 10, eyalina ekiwundu mu maaso kyokka ng'alaajana agamba nti, "Munte njagala kugenda waffe", nakimanya nti yali atomeddwa wabula ng'afunye ekiwalazzima. Wabula bwe nakuba amaaso ku wange nawunga, yali abunye ebiwundu ku mutwe ng'ajjudde omusaayi era nga teyeenyeenya.

Mmotoka eyamutomera teyadduka, bwetutyo ne tukwata abaana bombi okubaddusa mu ddwaaliro e Villa Maria. Mu kiseera ekyo nakimanya nti nnali ntwala mulambo basawo kugwekebejja kuba essuubi lyali lyampedde dda era ab'eka nabaleka mu miranga. Twatuuka ku ddwaaliro era wadde byali biseera bya Ssekukkulu, abasawo baaliwo mutabani wange baamusiba ebiwundu kyokka nga ndi ku ssaala.

Omugoba wa mmotoka olwatutuusa n'atutegeeza nti k'agende ku poliisi agitegeeze bw'atomedde wabula teyadda. Ziba ziwera ssaawa nga 2:00 ez'ekiro, omwana wange yatandika okwenyeenya bwentyo ne nzisa ekikkowe.

Namuyita erinnya nga bw'anziramu kyokka nga tatunula ne ndowooza ate oba agenda kufuuka muzibe, ne nneeraliikirira buto. Ng'azze bulungi engulu, yakwata mu mutwe nga gwonna musibe n'ambuuza nti, "Maama bino mbiggyemu", kino kyandaga nti yali talina ky'ajjukira kwe kutandika okumunnyonnyola buli kimu. Abasawo baamujjanjaba era bantegeeza nga bwe yali ow'omukisa kuba ebiwundu byali tebiyingidde nnyo munda.

Ng'embeera egenda etereera we namanyira n'engeri akabenje gye kaatuukawo. Abamu ku baana bwe baali bazannya bantegeeza nti essomero lya mutabani wange lyali liggaddwa nga nnannyini bizimbe abitunda, mu kukaayana nabo nga ye agamba balimba baasalawo okuddukayo bakakase.

Mubatani wange ne munne bwe baabatomera be baali bakulembeddemu era be baatomerwa. Twasiibulwa enkeera wa Ssekukkulu ne tumujjanjabira awaka era yamala n'awona newankubadde nga yasigaza obuvune mu mutwe kw'ossa n'okumuziyiza okwetikka ebizito.

Mutabani wange kati wa myaka 24 era buli lwe mmutunuulira ndaba omukono gwa Katonda ogw'ekisac

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...