TOP

Ono emagombe asimbyeyo kitooke

Added 23rd December 2018

Ono emagombe asimbyeyo kitooke

MUSAJJAMUKULU ono Ssekukkulu emwegaanyi. Gyabadde agenze okuginoonyezza bamukubiddeyo emiggo, amayinja n'ensambaggere era kigambibwa akyali mu ddwaaliro e Mulago gye yatwaliddwa poliisi ng'ataawa.

Abamulabyeko batugambye nti emagombe asimbyeyo kitooke. Ggaayi ono okukubwa n'okwambulwamu engoye kiddiridde okuyingira mu kikomera ky'omutuuze omu e Kitende ku lw'e Ntebe n'abbamu essimu n'emitwalo 50. Waliwo eyamulabye n'atemya ku batuuze ne bamugoba era obwedda abuuka ebibanda n'omunyago gwe ng'eno bwe yeeyambula engoye okubuzaabuza abamugoba.

Kigambibwa nti yabadde ayambadde engoye za mirundi ng'ena nga bw'aggyako eziri ku ngulu n'alabika bulula. Kyokka baamulemeddeko ne bamugoba okutuusa lwe baamukutte era poliisi y'e Kajjansi we yatuukidde okumutaasa nga bamaze okumwambula baagala kumukumako muliro kyokka nga feesi ewulubadde. Baamututte mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujjanjabi kyokka tetumanyi oba yawonye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...