TOP

Abaana 111 babatiziddwa ku lutikko e Lubaga

Added 26th December 2018

ABAANA 111 bafunye e Saakalamentu lya Batisimu ne bayingizibwa mu Ekleziya Katolika mu butongole. Baabatiziddwa mu kitambiro ky’emmissa ekyabadde ku lutikko e Lubaga ku Boxing day.

 Faaza Emmanuel Kalema ng'abatiza omwana.

Faaza Emmanuel Kalema ng'abatiza omwana.

Bya LAWRENCE KIZITO

Faaza Emmanuel Calm Kalema eyakulembeddemu ekitambiro yasabye abazadde okwettikka obuvunaanyizibwa bwabwe, bakuze abaana bano nga bali mu kkubo lya Katonda.

"Mwetisse omugugu ogw'okulaba nga abaana bano tebava mu kkubo lya Katonda era mbasaba okukola obulungi omulimu guno, abaana mubayigirize eddiini, empisa, okutya Katonda n'okufuna amasaakalamentu, basobole okuweesa Katonda ekitiibwa." Faaza Kalema bwe yategeezezza.

Yannyonnyodde nti Eklezia ezze ebatiza abaana abato, abatayogera nga tebasobola kwesalirawo kubanga Yezu yagamba mu Yowanne 3:5 nti tewali muntu n'omu agenda kuyingira Bwakabaka bwa Katonda, okujjako ng'amaze okuzaalibwa mu mazzi ne mu mwoyo.

Yagambye nti ffenna tetumanyi nkomerero yaffe ku nsi ng'omwana singa afa nga tazaaliddwa mu mazzi, abeera agenda kusubwa Obwakabaka bwa Katonda.

Yayongeddeko nti okusalawo okusooka ku mwana kulina kukolebwa bazadde ku lw'obulungi bwe nga y'ensonga lwaki bamutwala ku ssomero, bamuyigiriza okunaaba, okwaniriza obulungi abagenyi nga tannaba kwesalirawo.

Yakubirizza abantu okujuliranga Yezu Kristu mu buli mbeera mwe babeera, kubanga mu ye mwe muli obulamu.

Mu missa eno Faaza Kalema yayambiddwaako akulira abavubuka e Lubaga Faaza Simon Peter Ssekyanzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...