TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Buchaman bamuggalidde lwa kuyiwa nva za nneyiba ku Ssekukkulu

Buchaman bamuggalidde lwa kuyiwa nva za nneyiba ku Ssekukkulu

Added 27th December 2018

Ye Omuyimbi Buchaman yakwatiddwa Poliisi ye Katwe eggulo n’aggalirwa nga bamulanga kuyiwa nva za muliraanwa we eza Ssekukkulu.

 Buchaman eyakwatiddwa n'aggalirwa

Buchaman eyakwatiddwa n'aggalirwa

Yabadde amulanga kufumba nnyama ng'ate ye ng'omulaasi talya nnyama.

E Kawempe Poliisi n'amagye baalemesezza abamenyi b'amateeka okutigomya ebyalo era ng'ekiro kya Ssekukkulu baakimazeeko bagobagana n'ababbi.

Twahir Kasembeza omumyuka w'atwala poliisi y'oku Kaleerwe yategeezezza nti abaserikale ba poliisi n'amagye baasuze balawuna ekitundu era nga baawaliriziddwa okuyimiriza ebivvulu byonna ku ssaawa 6:00 ez'ekiro.

Dan Ampadde atwala poliisi ye Ttula - Kawempe yategeezezza nti okuggyako ettamiiro mu bantu naye tebaabadde na misango gya kubba.

E Kanyanya abavubuka abamenyi b'amateeka obwedda baliimisa poliisi n'amagye nga gye bava ate bo gye badda.

Abantu bangi babbiddwa n'okukubwa abayaaye obwedda ababateega mu makubo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...