TOP

Omuserikale yeekubye essasi ku mutwe n'afiirawo

Added 27th December 2018

Omukuumi wa kkampuni enkuumi eya Rock Security Services akutte emmundu ne yeekuba essasi ku mutwe n’afiirawo bw’abadde ku mulimu gw’okukuuma ne banne ku Ssekukkulu.

Charles Okene abadde asula ku ofiisi za kkampuni gy'abadde akolera e Kalinaabiri zooni II mu muluka gwa Bukoto II mu munisipaali ya Nakawa ye yeekubye essasi ku mutwe n'afiirawo.

Kyabadde tekinnamanyika ekyamwessizza kuba kiteeberezebwa nti yeekubye mu bugenderevu.

Poliisi yagguddewo fayiro nnamba SD37/25/12/2018 omulambo gwa Okene ne gutwalibwa mu ggwanika mu ddwaaliro e Mulago.

Ate Poliisi e Namugongo yawaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga nga bagezaako okuyimiriza emmotoka eyakoonye abantu ababiri abaabadde batambuza ebigere, kyokka n'eteyimirira.

Luke Owoyesigyire omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano yagambye nti akabenje kaabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu nga bukya.

Emmotoka ekika kya Toyota Gaia UAV 175T ye yakoonye abatambuza ebigere n'eteyimirira.

Kabangali ya Poliisi yagobye emmotoka eyakoze akabenje era abaagibaddemu baagivuddemu ne badduka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...