TOP

Baze gwe mmaze naye emyaka 12 anjabulidde

Added 27th December 2018

NZE Sarah Masaba 32, mbeera Kibiri e Busaabala. Ndi mukyala mufumbo nga tulina abaana bana mu kaseera kano.

Wabula mu April wa 2018, baze yanjabulira n'abaana bange nga sitegedde nsonga yamutwala ku bbanga lye twali tumaze naye ery'emyaka 12.

Okuva baze lwe yatuleka, embeera yafuukira ddala nzibu olw'ensonga nti yatuleka mu kazigo nga tukyapangisa ekikaluubirizza obulamu bwange n'okulabirira abaana be yandekera nga balina n'okusoma.

Ensimbi z'okuweerera abaana ku ssomero nga bwe kiri kati nazo zifuuse kizibu olw'ensonga nti sirina mulimu gwe nkola gwa nkalakkalira okusobola okubayambako mu kusasula ebisale byabwe.

Ennyumba mwe nsula nnannyini yo yangobyemu era nsobeddwa awokudda kuba sikola ate nga ne bazadde bange banfaako.

Nsaba kumpa ku magezi. Kantwale omukisa guno okulabula abaana abawala bonna obutamalira maanyi gaabwe n'ebirowoozo byabwe ku basajja kubanga tebalwa kwefuula ne bwe muba mumaze naye emyaka.

Mbasaba bafune kye bayinza okwekolerawo obutanyigirizibwa nga basuuliddwaawo omusajja.

Nsaba n'abasajja mwenna gye muli obutasuulirira buvunaanyizibwa bwabwe naddala okulabirira abaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...