TOP

AbaChina balaajanidde Museveni ku bafere

Added 27th December 2018

ABA China bakaabidde mu lukiiko nga battottola ennaku n’okusoomoozebwa kwe bayitamu oluvannyuma lw’abamu ku Bannayuganda okubafera ssente zaabwe.

 M engtho (ku kkono) ne Chen abagamba nti Bannayuganda babafera.

M engtho (ku kkono) ne Chen abagamba nti Bannayuganda babafera.

Bino byabadde mu lukiiko lwa bannamawulire olwatuuziddwa abamu ku bamusigansimbi abachina abaakulembeddwaamu Allen Chen ne Yan Meng Xiao ku wooteeri ya Ariranga e Nakasero n'ekigendererwa ky'okusaba Pulezidenti okuyamba bamusigansimbi ku Bannayuganda abatandise okubafera n'okubanyagako ensimbi zaabwe.

Bano baalumiriza Banayuganda okuli; Stanely Byamugisha, Christine Nakigudde ne munnamateeka Allan Mulindwa okubanyagako ssente ezisoba mu bukadde 200 oluvannyuma lw'okukolagana nabo mu bizinensi ate ne babalyazaamaanya.

"Tusaba Pulezidenti w'eggwanga lino ayingire mu nsonga zino kuba Bannayuganda batandise okututiisatiisa n'okumalamu bamusigansimbi amaanyi nga bayita mu kubanyagako ssente n'okubalyazaamanya", Yan Meng Xiao bwe yategeezezza.

Bino we bijjidde ng'Abachina baakamala okulumba agamu ku maduuka ga Bannayuganda abakolera mu Kikuubo gye buvuddeko ne beekubira enduulu kyokka ne batafuna kuyambibwa ekintu ekyabawalirizza okwekubira enduulu eri Pulesidenti.

Wabula Byamugisha bwe yatuukiriddwa ku nsonga zino yegaanye ebimwogerwako ng'agamba nti ye yabanja omu ku ba China bano (Chen) era n'akakasa nti essaawa yonna amazima gagenda kuzuulwa ssinga omusango ogwo gunaaba gusaliddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...