TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire ya Nkoyoyo esazeewo emalirize bye yaleka atandiseeko

Famire ya Nkoyoyo esazeewo emalirize bye yaleka atandiseeko

Added 27th December 2018

Abooluganda lw’omugenzi Ssaabalabirizi Mpalanyi Nkoyoyo nga bakulembeddwaamu Damalie Nkoyooyo baakutuukiriza ezimu ku zaali entegeka ze nga bali mu keetalo ak’okutegeka omukolo ogw’okumanyagana, n’okwaniriza baganda baabwe be yaleka azudde okuva e Masaka - Kyotera, bazzukulu ba Musa Masiini.

 Ennyumba empya nga bw'efaanana. Mu katono ye mugenzi Nkoyoyo

Ennyumba empya nga bw'efaanana. Mu katono ye mugenzi Nkoyoyo

Yagambye nti okubaaniriza ku mbuga ya jjajjaabwe Erisa Wamala Nkoyoyo Kagiri e Matale, ye yali emu ku nteekateeka ez'amaanyi ze yali atandise okuteekamu amaanyi basobole okwegatta n'okukolaganira awamu ngabooluganda oluvannyuma lw'okumala ebbanga ng'abanoonya.

" Kino tukikoze okutuukiriza n'okumaliriza obweyamo bwa muganda waffe omugenzi Mpalanyi Nkoyoyo obw'okuzza bannyinaffe ne baganda baffe abaali baazaawa. Omukolo guno yaguleka mu nteekateeka era yali agwesunze wabula obulwadde tebwamusobozesa era tukkiriza nti kino bwe kinaggwa omwoyo gwe gunaawummula mirembe." Damalie Nkoyoyo bwe yagambye.

Yategeezezza nga bwe bakoze ekisoboka okuzza obuggya ennyumba eyali ey'omugenzi Kagiri eyali azaala Mpalanyi Nkoyoyo era nga bwe kyali mu ntegeka ze olw'abaganda baabwe abaali bagenda okwanjulwa mu kika.

Ye Erisa Kiwala Nkoyoyo yagambye nti, kya makulu okumanyagana olw'ensonga nti kisobozesa abantu ab'enjawulo okwetegeera nti basibuka mu lulyo lumu, n'okuteekawo omukwano ogw'abooluganda okubaako eky'amakulu ekirabika kye mukola kubanga ensibuko y'obugagga ye famire yo.

"Ensi okutabanguka mu ngeri etategeerekeka okulaba ng' ab'ekika ekimu bafumbiriganwa, byonna biva ku butamanyagana noolwekyo ensonga y'okumanyagana nkulu mu b'ekika okwewonya amawemukirano ag'engeri ng'eyo.

Omukolo guno gwakubaawo nga December 29 2018 ku mbuga y'omugenzi Ssaabalabirizi Nkoyoyo gy'asibuka e Matale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...

Gav't etaddewo obukwakkuliz...

GAVUMENTI etegeezezza nti abasuubuzi abaagala okuddamu okusuubula ebintu ebiva n'okutwaliribwa mu mawanga g'ebweru...