TOP

Entambula y'emmeeri ya MV Kalangala ekyuse

Added 27th December 2018

ABANTU abagenda e Kalangala okulya obulamu mu nnaku enkulu n’abatwalayo bizinensi beeyongedde.

 Abantu ku mmeeri ya MV Kalangala.

Abantu ku mmeeri ya MV Kalangala.

Kino kiwalirizza abavunaanyizibwa ku mmeeri ya MV Kalangala okwongera ku mirundi gy'esaabaza abantu n'okukyusa obudde kw'esimbulira n'okugoba ku lukalu.

Kyokka enkyukakyuka eno yadde erina ky'eyambye, naye omujjuzo gw'abasaabaze gukyaliwo.

Kati emmeeri eno eya MV Kalangala ekola luutu ssatu olunaku okuva ku bbiri z'ebadde esaabaza abantu mu nnaku eza bulijjo.

Emmeeri eno esaabaza abantu okuva ku mwalo gw'e Nakiwogo e Ntebe okudda ku gw'e Lutoboka mu Kalangala.

Olw'obungi bw'abantu, katono abasaabaze bibabugume ku Ssande ng'abantu balwana okulinnya emmeeri e Nakiwogo.

Emmeeri eno kati esimbula okuva e Kalangala ku ssaawa 1:00 ku makya n'etuuka e Nakiwogo ku ssaawa 4:30 ate n'esimbula okuddayo ku ssaawa 5:30.

Ku ssaawa 8:30 evaayo n'edda e Nakiwogo. Ku ssaawa 11:00 esimbulayo n'etuuka e Kalangala ku ssaawa 1:30 ez'akawungeezi.

Henry Ategeka ow'ekitongole ky'ebyentambula y'oku mazzi mu minisitule y'ebyenguudo n'entambula yagambye nti okwongera ku mirundi emmeeri eno gy'etambula kyavudde ku bungi bw'abantu abava n'okudda ku bizinga by'e Kalangala okweyongera.

Yagambye nti bataddewo amaato agali obulindaala okwah− hanga obuzibu bwonna obuyinza okugwawo ku mazzi.

Ye Sadala Musoke akulira kkampuni ya National Oil Distributor Ltd abaapatanibwa minisitule y'ebyenguudo n'entambula okuddukanya emmeeri eno yagambye nti buli lukya abantu abadda n'okuva e Kalangala beeyongera.

Yasabye abantu okugondera amateeka agafuga emmeeri.

Yagambye nti wadde nga gavumenti eteekateeka okufuna entambula y'o ku mazzi endala okuva e Nakiwogo okudda e Kalangala, abasaabaze bandibadde bagumiikiriza ne batamala galinnya maato agatali ku mutindo.

Entambula okudda e Kalangala ku ludda lw'e Masaka yo tebadde na buzibu bw'amaanyi olw'ebidyeri ebibiri okuli MV Pearl ne MV Ssese ebiddukanyizibwa kkampuni ya Kalangala Infrastructure Services (KIS) okuva ku mwalo gw'e Bukakkata okudda e Kalangala okubeera nga bikola bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...