TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eby'omubaka Kato Lubwama okulwanira ku ttivi nga bamuyeeya obutamanya Luzungu byongedde okulanda

Eby'omubaka Kato Lubwama okulwanira ku ttivi nga bamuyeeya obutamanya Luzungu byongedde okulanda

Added 27th December 2018

EBYOMUBAKA Kato Lubwama okupacca eyabadde amuyeyereza obutamanya Luzungu empi ng’ali ‘layivu’ ku Spark TV byongedde okulanda akakiiko akavunaanyizibwa ku biwererezebwa ku mpewo aka UCC bwe katadde akazito ku baddukanya ttivi eno okunyonnyola ebyabaddewo ne katiisa n’okugyiggyako layisinsi singa eremwa okwennyonnyolako mu ngeri ematiza.

 Omubaka Kato Lubwama

Omubaka Kato Lubwama

Kino kiddiridde omubaka  wa Lubaga South, Kato Lubwama , okuva mu mbeera n'apacca omutegesi w'ebivvulu Andy Mukasa empi bwe yabadde ku pulogulaamu ya ‘Koona' ku Lwokutaano December 21 ng'amulumiriza obutamanya Luzungu kye yagambye nti kye kimugaana okwogera mu palamenti. 

Mukasa yalumirizza Kato Lubwama nti mu palamenti gy'ali basajja bagezi nnyo ng'ate bamanyi Oluzungu Kato lw'atamanyi n'agamba nti kye kimugaana okwogera, Era ne yebuuza lwaki Kato Lubwama tavangayo kulwanirira Bobi Wine mu bizibu by'alina ne gavumenti ng'ate muyimbi munne.             

Kato yamusoomozezza  nti oba ayagala (okumanya nti alumanyi)  pulogulaamu eyabadde ey'Oluganda bagizze mu Luzungu abalageko ky'alinawo. Kyokka bwe baayongedde okumuyeeya (okusinziira ku katambi akasasaanidde ku mikutu gy'empuliziganya ) n'ava mu mbeera n'asituka n'apacca Mukasa empi era n'afuluma.                         

Akulira akakiiko  akavunaanyizibwa ku biwerezebwa ku mpewo aka  UCC Godfrey Mutabaazi olwalabye bino  n'afulumya ekiwandiiko ku mukutu gw'akakiiko aka Twitter n'awa Spark ennaku 14 yewozeeko ng'ennyonnyola lwaki tegibwako layisinsi olw'okulemnererwa okukuuma amateeka agafuga ebiwerezebwa ku mpewo.

Era yalagidde  eyabadde awereza pulogulaamu eyo Miles Rwamiti ayamirizibwe ne pulogulaamu ye wamu n'agiteekateeka (producer). 

Yabalagidde abaddukanya ttivi eno okunnyonnyonyola ebyaliwo ebyavaako embeera eno n'ebyadirira nga bimaze okuggwaako bawereze n'akatambi akalaga embyadirira mu bwangu.             

Minisita w'ebyamawulire Frank Tumwebaze yategeezezza ku mukutu gwe ogwa Twitter nti  ekikolwa kino n'agamba nti bwe kuba ekituufu kyakontanye n'ematteeka agafuga ebiwerezebwa ku mpewo. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...