TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga lwaki osaanye okugoberera eddiini y'Obusiraamu

Ensonga lwaki osaanye okugoberera eddiini y'Obusiraamu

Added 28th December 2018

ALLAH yasiima Obusiraamu nga y’eddiini abantu gye balina okugoberera era n’agiteekako amateeka ge balina okugoberera okusobola okubeera obumu mu nsi mu mirembe bagende okutuuka mu maaso ga Allah nga basiimiddwa.

 Abakyala nga basaala

Abakyala nga basaala

Sheikh Murshid Busuulwa, ssentebe w'abavubuka Abasiraamu ku muzikiti e Kasubi ku Masiro annyonnyola ku nsonga eno: Allah agamba Nabbi Muhammad (S.A.W) mu Kulaani nti, "Olwaleero nzijuza ku mmwe eddiini yammwe, era ne nzijuza ku mmwe ekyengera kyange, ne mbasiimira eddiini ya Busiraamu nga gye mulina okugoberera.''

1 Obusiraamu bukoowoola abantu okubeera abooluganda n'okwagalana nga buyunga oluganda lw'Obusiraamu, olwomusaayi n'oluganda lw'abantu bonna. Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti, "Temugenda kuyingira Jjana okutuusa nga mumaze okukkiriza ate temuyinza kufuuka bakkiriza okutuusa nga mumaze okwagalana. N'abagamba ti mbabuulireyo ekintu kimu nga bwe muba mukikoze mugenda kwagalana, muyitirize salaamu wakati wammwe."

2 Omusiraamu ku Musiraamu munne kya tteeka okumuyisa obulungi ng'oyunga oluganda lw'Obusiraamu nga Allah bwe yatugamba nti, mugondere Allah n'omubaka we, temukyawagana nga bwe munaakyawagana mujja kuggwaamu ensa kibafuule abantu abatali baamugaso mu nsi. Ssinga tugoberera amateeka ga Allah nga bwe yagatuteekako nga tukulembeza Busiraamu ku Ensonga lwaki osaanye okugoberera eddiini y'Obusiraamu buli nsonga twandibadde abantu abeekitiibwa mu nsi.

3 Obusiraamu bwateekateeka obulamu bw'omuntu okuva lw'azaalibwa okutuusa ng'afudde, nga buyita mu kuwa Zzaka, saddaaka ng'eva mu bagagga n'eweebwa abaavu n'ekigendererwa ky'okulwanisa abantu okuwangaala nga baavu. Era omuntu bw'afa emmaali ya bamulekwa ebeera yagabwa dda mu mateeka g'Obusiraamu nga Allah bwe yakirambika mu Surat Nisah, n'ekigendererwa ky'okumalawo enkaayana mu ηηanda zaffe. Abagezezzaako okugaana okugoberera amateeka ga Allah mu kugaba ebintu bya bamulekwa bali mu kulwanagana n'okwetema amajambiya lwa byabugagga.

4 Allah yatusiimira Obusiraamu buno kubanga bugaana okufulumya ekigambo oba ekikolwa kyonna nga kigenda kwonoona oba okutemaatema mu bantu b'obeera nabo n'okuggwaako emirembe.

5 Obusiraamu butuggya mu kizikiza ne bututeeka mu kitangaala nga butugaana okusaba ebintu ebirala ebitali Allah, ng'okusaba kabbuli, n'ebyawongo ne butukubiriza okwawula Allah mu bw'omu bwe.

6 Butulambika okwolesa empisa ennungi ne butukubiriza okuziyiza emize n'okunywerera ku mazima ku buli mbeera yonna.

Aisha (R.A) yabuuzibwa ku mpisa za Nabbi Muhammad (S.A.W) n'abagamba nti, empisa ze zaatambuliranga ku Kulaani, kitegeeza nti empisa ze zaali nnungi.

Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti, abasinga obukkiriza mu mmwe y'oyo abasinga empisa ennungi.

Obusiraamu mukuume ekitiibwa ky'omuntu nga mugaana okutemerera abantu, kubanga kiyinza okuvaako okwetemamu kw'Obusiraamu, ensonga yonna bw'ejja wadde nga ntuufu naye nga kyandivaako Abasiraamu okwetemamu bugigaana olw'okwagala okukuuma obumu bw'Obusiraamu.

Obusiraamu bukoowoola omuntu okwekuuma ye ng'omuntu n'emmaali ye ng'ayita mu kuwa zzaka Allah agiteekeko olukomera, era ne bukubiriza okukolaganira awamu mu kutya Allah.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.