TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abeebijambiya basse omusawo ne bamusuula mu nnimiro e Kabonera - Masaka

Abeebijambiya basse omusawo ne bamusuula mu nnimiro e Kabonera - Masaka

Added 28th December 2018

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kyanakase mu ggombolola ye Kabonera e Masaka abatemu b’ebijambiya bwe balumbye omusawo eyamummula emirimu gya Gavumenti ne bamutemaatema ne bamutta!

 Abooluganda lwa Nansubuga (mu katono) ng’amaziga gabayitamu.

Abooluganda lwa Nansubuga (mu katono) ng’amaziga gabayitamu.

Ettemu lino lyabaddewo mu kiro ky'Olwokusatu (Boxing Day) Molly Nansubuga 62, bwe baamusanze ng'ava mu kiyungu ky'ebweru ng'ayingira enju ekiro ne bamutemaatema n'oluvannyuma ne bakulula omulambo gwe ne bagusuula mu musiri gwa kasooli okumpi n'amaka ge!

Kigambibwa nti omugenzi yabadde yekka awaka oluvannyuma lw'abazzukulu be okugenda okuwummula n'okulya ennaku enkulu mu bazadde baabwe.

BAZUULA BATYA NTI BAMUSSE

Omulambo gwe gwalabiddwa muganda we Rose Nansubuga naye asula ku kyalo kino eyakedde okuzzaayo amasowaani ge yamuweereddeko ebyassava bya Ssekukkulu.

Rose bwe yatuuse emmanju amaaso yagakubye ku kitaba kya musaayi mu mulyango n'ekyazzeeko kugoberera mukululo ogwamusudde ku mulambo gwe nga guli mu musiri gwa kasooli nga guli bute nga n'akawale ak'omunda kali awo ku mabbali! Kirowoozebwa nti abaamusse baasoose kumusobyako.

Mu kisenge kye, baasanze ebintu bitinkuddwa nga ne ssente ze yagabanye ez'ekibiina teziriimu. Abatuuze balumiriza nti abaatemudde munnaabwe bandiba nga bavubuka abaagala eby'amangu abaategedde nti yagabanye ssente ku Ssande.

ABATUUZE  BATABUKIDDE POLIISI

Waabaddewo okusika omuguwa wakati wa poliisi n'abatuuze ssaako abooluganda lwa Nansubuga nga baagala poliisi esooke ereete embwa enkonzi z'olusu.

Oluvannyuma poliisi yapondoose n'ereeta embwa ku ssaawa 8:00 ez'emisana kyokka terina kye yazudde oluvannyuma lw'abantu okulinnyirira ekifo kyonna.

Ssentebe w'eggombolola ye Kabonera, Francis Ssebula yategeezezza nti Nansubuga yali musawo era yakolerako mu kitongole kya Kitovu Mobile naddala mu kubudaabuda abantu.

Poliisi n'abeebyokwerinda e Masaka abaakulembeddwaamu DISO Andrew Kandiho baaleese omusawo omukugu eyeekebezze omulambo gwa Nansubuga.

Oluvannyuma gwakwasiddwa abooluganda bakole ku by'okuziika ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Kandiho yasabye abatuuze abayinza okubayamba okuzuula abatemu bano babawe amawulire n'abagumya nti ne bano bajja kukwatibwa ng'abeebijambiya abalala be bazze bakwata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nakaayi ng'ali mu nsiike ne Nannyondo

Nakaayi yeebugira mpaka z'e...

MUNNAYUGANDA omuddusi Halima Nakaayi ali ku ssaala okulaba ng’emisinde gya ‘Diamond League’ gibeerawo mu kibuga...

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...