TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyalagula Amerika okukubwa bbomu mu 2001 azzeemu okukankanya ensi: 'Trump agenda kuziba amatu mu 2019...'

Eyalagula Amerika okukubwa bbomu mu 2001 azzeemu okukankanya ensi: 'Trump agenda kuziba amatu mu 2019...'

Added 30th December 2018

YALAGULA nti bannalukalala bagenda kukuba Amerika awabi mu mwaka 2001, ne kiba. Yazzeemu okulagula Bungereza nga bw’ejja okuva mu mukago gwa Bulaaya ate wuuno kati alagudde Trump nti agenda kuziba amatu mu 2019!

 Baba eyalagudde Trump. Trump ne Pulezidenti wa China Xi Jinping.

Baba eyalagudde Trump. Trump ne Pulezidenti wa China Xi Jinping.

Omukazi ono muzibe eyeegulidde erinnya mu kulagula ebintu ne bituukirira olulagulidde Trump, Pulezidenti wa Amerika, ensi n'agissa ku bunkenke bw'agambye nti agenda kufuna ekirwadde ekikambwe kimufuule kiggala. Abantu bangi bamukkiririzaamu nti by'alagula bituukirira.

Ye yalagula nti Amerika ejja kusuulwako bbomu era ne kiba nga November 9, 2001.

Ku Trump, omukazi ono Baba Vanga agasseeko okulagula nga ne Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin bwe bajja okumwegezaamu okumutta.

Agenze mu maaso nti Russia ya Putin n'amawanga g'olukalu lwa bulaaya mangi gagenda kubeera mu katuubagiro k'ebyenfuna.

Baba muzaale w'e Bulgaria mu Bulaaya. Ekyewuunyisa, Baba yafa dda mu 1996 ku myaka 85 naye akyagenda mu maaso n'okulagula ku buli ntandibwa ya mwaka ng'ayita mu kwolesa abo abamukkiririzaamu!

OLUMBE OLUNAAZIBA TRUMP AMATU

Baba alagudde ng'ekimbe bwe kigenda okukuba Trump kimuleke ng'awunze.

Kigenda kumwasa amatu abeere nga tawulira kintu kyonna naye nga tajja kufa mu mwaka 2019. Ekimbe ekigenda okulumba Donald Trump tekigenda kumuleetera kuziba matu kwokka wabula agenda kufuna ssennyiga ow'amaanyi akosebwe ne ku bwongo. Era waliwo owooluganda lwe ajja okugwa ku kabenje ka mmotoka.

Omwaka guno 2018 amawulire gaafuluma ng'ababaka ba Amerika e Cuba ne China baalwala obulwadde obwabaziba amatu.

Kigambibwa nti amatu gaabwe gaalwala olw'ebyuma eby'amaanyi bye bakozesa okuketta amawanga ago kuba kumpi omuntu akozesa essimu n'asiiba ng'ajoogererako essaawa 12 be ddu ekivaamu matu kuziba.

Mu kiseera kye kimu, amawanga ge balimu nago gaba gabaketta era ebyuma eby'amaanyi bye basimba mu bifo gye basula, bye byavaako amatu gaabwe okuziba olw'amasannyalaze ag'amaanyi agabirimu.

ABAKUUMI BA PUTIN BANAAMWEGEZAAMU

Ku kya Putin, abakuumi be bennyini be bagenda okumwegezaamu okumukuba amasasi naye tebajja kumusobola olw'amaanyi ge.

Baba era azze alagula ebintu bingi omuli n'omuyaga ogw'amaanyi ogwa Tsunami era alagudde nti n'omwaka ogujja, ebitundu bya Asia ne Bulaaya bya kufuna embeera y'obudde enzibu eyongere n'okutabula ebyenfuna byabwe. Guno si gwe mulundi ogugenda okusooka okwegeza mu Putin.

Mu 2012 bwe yali mu kampeyini baamwegezaamu okumukuba amasasi kyokka n'asimattuka.

Putin yeetooloddwa abakuumi b'ayita ba ‘Sniper' abakuba ssabbaawa omuntu yenna asuubirwa okuba omulabe we. Kino nakyo kiri ng'ekyongera okukakasa nti okulabula kwa Baba kwandibaamu eggumba.

Alabudde Putin okubeera obulindaala olw'omuzinga ogw'amaanyi oguyinza okuwanuka mu bwengula ne bagusuula ku Russia sinakindi mu kifo kyennyini mw'ali.

Kisuubirwa nga Bungereza olunaava mu lukuhhaana lwa European Union nga March 29, 2019 ejja kulangirira nti eviiridde ddala mu mukago ogwo. Ate Tsunami waakukuba Pakistan, Buyindi, China, Japan ne Indonesia.

Bino we bijjidde nga Indonesia yatandise dda okufuna ebikangabwa kubanga omuyaga gwabagoyezza mu biseera bya Ssekukkulu ne gutta abantu 430 nga n'omwaka 2019 tegunnatuuka.

BAWAKANYIZZA OKULAGULA KWA BABA

Waliwo abawakanya ebya Baba nga bagamba lwaki yalemwa okwezuula nti aliziba amaaso era yagenda kufa nga muzibe!

Amaaso ge gaaziba lwa muyaga ogwayita mu 1996 ne gumuyiwa enfuufu empitirivu mu maaso. Okulagula yakutandika dda mu 1979.

Kigambibwa nti we yafiira ng'alagudde embeera n'etuukirira ebitundu 85 ku 100.

Yasinganga kulagula mbeera ya budde mbi erirumba Bulaaya ne Russia era ne bituukirira.

BYE YALAGULA NE BIGAANA

Alina bye yalagula ne bigaana omuli okugamba nti Barack Obama y'ajja okuba Pulezidenti wa Amerika asemba abantu ne balowooza nti Trump tajja kulayira naye kati agenda mu maaso na kufuga nsi.

EBIRI MU MAASO BY'ALAGUDDE

Ebirala bye yalagudde nti, ensi ejja kugwaamu enjala mu mwaka 2028, ssehhendo Mars ajja kubeerako eby'okulwanyisa by'amaanyi ga nukiriya mu mwaka gwa 2256 ate ensi yonna ejja kuba nzibu ya kusigalako omuntu omulamu yenna mu mwaka gwa 2341.

Bino bikyali wala naye katulinde!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...