TOP

Owapoliisi bamukutte lwa kusobya ku mwana

Added 1st January 2019

Owapoliisi bamukutte lwa kusobya ku mwana

POLIISI y'e Mpigi ekutte omuserikale waayo nga kigambibwa nti yasobezza ku mwana wa munne. Antony Twesigye 52, ng'alina abakyala babiri, ye yakwatiddwa olw'okusobya ku mwana ow'emyaka etaano gyokka!

Twesigye okusobya ku mwana ono kigambibwa nti yalabirizza bazadde be bombi nga bavuddewo n'amuvumbiikiriza n'amusobyako. Omwana yamusooberedde ku ssaawa nga 2:00 ez'ekiro ekyakeesezza eggulo nga mu nnyumba mwe yavudde yaleseemu mukazi we ng'alaba kazannyo ku ttivvi. Yasoose kumuwa sswiiti n'amulagira okuggyamu empale amusituleko. Bwe yalabye kagiggyeemu naye n'aggyamu eyiye n'akasobyako ng'akasitulidde ku magulu ge.

Taata w'omwana yategeezezza nti bwe yamaze okusobya ku mwana we n'amulagira okuyingira mu nnyumba era n'amukalaatira obutabaako muntu yenna gw'abuulira kimutuuseeko. Omwana eyalabye Twesigye ng'asobya ku munne ku lusebenju yayanguye okubuulira maama waabwe nga yakatuuka awaka era bwe baamukebedde ne bakizuula nti yabadde asobezeddwaako.

Maama w'omwana yayanguye okuyita bba eyabadde ku mulimu ng'akuuma era Twesigye amangu ddala n'akwatibwa. Omwana yagambye nti Twesigye yabayise bombi n'abawa sswiiti n'alagira munne okuggyaamu empale nga bw'amuyambako n'oluvannyuma n'eyiye n'agiggyamu n'amussa ku magulu ge nga amwesigamizza ku kisenge n'amusobyako.

Yagambye nti obwedda agezaako okulwana n'okuleekaana kyokka ng'amunyweza amagulu n'okumukwata emimwa. Taata w'omwana yagambye nti baamusanzeeko amazzi ku magulu n'ebisambi ge baatutte okukebera okusobola okufuna obujulizi ku nsonga eno.

Wabula Twesigye ebyayogeddwa abaana n'abazadde yabyegaanyi n'ategeeza nga bwatannaba kusobya ku mwana wa muserikale munne. Yagambye nti ebimwogerwako birabika biva ku ntalo za mirimu na mpalana ze bamulinako kubanga tayinza kusobya ku mwana wa munne.

Kino Taata w'omwana yakiwakanyizza n'agamba nti talina mbiranye yonna ne Twesigye. Akulira bambega ba poliisi e Mpigi, Andrew Ainembabazi agambye nti Twesigye agguddwako omusango gw'okusobya ku mwana atanneetuuka ku fayiro nnamba SD: 48/26/ 12/2018. N'agamba nti okunoonyereza kugenda mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...