TOP

Taata asozze muwala we ekiso n'amutta

Added 2nd January 2019

ROBERT Bukenya omutuuze w’e Kiyoola mu ggombolola y’e Nakisunga e Mukono, aludde ng’agugulana ne mukyala we Harriet Mirembe yawambye muwala we n'amutunga ekiso ku nsingo.

 Bukenya eyasse muwala we Nabukenya ng'atwalibwa ku Poliisi

Bukenya eyasse muwala we Nabukenya ng'atwalibwa ku Poliisi

Bukenya yalabirizza Mirembe ng'ali mu saluuni bamuyooyoota okuyingira omwaka omupya ng'atemagana n'amubbako muwala waabwe, Elina Nabukenya ow'emyaka 4 n'amufumita ekiso ku nsingo n'amuttirawo.

Mirembe yagambye nti, baludde nga balina obutakwatagana ne bba olw'okumulemesa okutunda ennyumba yaabwe mwe basula era babadde bayombagana olutatadde.

Yagasseeko nti, muwala we yamubuzeeko nga December 31 emisana n'amunoonyaako nga tamulaba ku makya abatuuze ne bakamutema nti, muwala we gw'anoonya omulambo gwe bagusanze mu lusuku.

Omulambo gwa Nabukenya, gwazuuliddwa omutuuze eyakedde okuyiwayo omusulo mu bitooke n'ayita batuuze banne.

Amagye ne poliisi okuva e Mukono, baayitiddwa bukubirire n'embwa ekonga olusu okuzuula omutemu gye yabadde addukidde.

Embwa olwawunyizza ku mulambo, yatandikiddewo okugoba ekkubo omutemu lye yakutte era Bukenya, baamuguddeko nga yeekukumye mu nnyumba ya muliraanwa.

Okutwala Bukenya ku poliisi e Mukono, poliisi yasanze akaseera akazibu ng'abatuuze baagala emubawe ‘bamwekolereko' olw'ettemu lye yakoze ku muwala we lye bagamba nti ku kyalo kyabwe libadde teribeerangako.

Teopista Nantongo omu ku baliraanwa ba Bukenya ne Mirembe yategeezezza nti enkwatagana wakati wa Mirembe ne Bukenya ebadde ntono ddala era nga mwana abadde abagatta kubanga Bukenya yali yayagala dda okutunda ennyumba mwe basula ne omukyala n'amulemesa.

Abatuuze baategeezezza nti, tebeetaaga Bukenya kudda ku kyalo kubanga ekikolwa kye yakoze kya ttimu nnyo ajja n'okutta abantu abalala baanaafuna nabo obutakkaanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...