
Omulambo gwa Kayemba ku mmotoka.
John Kayemba, abadde muwozi wa ssente (mannerenda) amanyiddwa ennyo mu Bwaise II mu Kampala, nga kuno agattako okukola obwa bbulooka bw'ettaka n'amayumba ne bizinensi y'okusuubula amanda.
Abazigu baamusse mu kiro ekyakeesezza Olusooka omwaka ng'eggwanga lyonna liri mu kubinuka olw'okumalako omwaka.
Abantu bangi tebaawulidde kanyoolagano kaabaddewo era beekanze mulambo ku makya.
Kigambibwa nti bwe yabadde addayo ewuwe, yagenze ku dduuka lya 'Mobile Money' e Bwaise n'aggyayo ssente ku ssimu. Kiteeberezebwa nti abaamulondodde baateeberezza nti alina ssente nnyingi olw'omulimu gw'okuwola ssente gw'abadde akola.
Omulambo baagusanze gwaziddwa ng'ensawo z'empale bazifudde ekiraga nti baagenze ne ssente.
Wabula ku dduuka lya 'Mobile Money' we yaggyiddeyo ssente baakizudde nga yabadde aggyeeyo emitwali 15 zokka (150,000/-) kyokka tekimanyiddwa oba yabadde n'ensimbi endala abazigu ze baagenze nazo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti abazigu baalondodde Kayemba ku ssaawa 5:00 ez'ekiro ekimalako omwaka 2018 bwe yabadde okumpi n'amaka ge agasangibwa mu Nakamiro Zooni mu muluka gwa Bwaise II.
Kayemba we baamuttidde, kinnya na mpindi ne poliisi y'e Nakamiro wabula tewali muserikale yavuddeyo kutaasa Kayemba.
N'okuggyawo omulambo poliisi kyagitwalidde essaawa nnamba ekyanyiizizza abatuuze.
Abatuuze bayongeddeko nti, ebimu ku bifo eby'obulabe mu kitundu kyabwe kuliko; omwala gwa Nakamiro Channel okuliraana we baatugidde Kayemba, ku kasaawe ka Nabukalu, ne mu kibangirizi kya katale k'abalimi aka Growers ne mu Namakula Zooni.
Baagambye nti okuva ku ssaawa 1:00 ey'akawungeezi, ababbi baba beetala nga banywerawo n'enjaga kyokka poliisi efaayo.
Ronald Kisekka muganda wa Kayemba yagambye nti, beetaaga bwenkanya mu kuttibwa kw'omuntu waabwe n'asaba poliisi ebeere nnambulukufu mu kunoonyereza ebawe ne lipooti.
Owoyesigyire yategeezezza nti poliisi yaggudddewo omusango ku fayiro nnamba SD:93/31/21/2018 okunoonyereza ne kutandikirawo okuzuula abazigu abasse Kayemba.
Omulambo gwasooseddwa mu ggwanika e Mulago oluvannyuma ne bagenda okuziika.