TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Faaza asimattuse okufiira mu kabenje e Lukaya ku lw'e Masaka

Faaza asimattuse okufiira mu kabenje e Lukaya ku lw'e Masaka

Added 2nd January 2019

FAAZA Henry Kasasa akulira essomero lya Uganda Martyrs SS Namugongo asimattuse okufiira mu kabenje e Lukaya ku lw'e Masaka.

Batomeraganidde mu maaso g'essundiro ly'amafuta erya Dawson kinnyanampindi n'emisanvu gya Poliisi egya 'Fika salaama'.   

Fr. Kasasa abadde avuga mmotoka ekika kya  Prado UAX 517H n'atomeragana n'owa Premeo UAY 652L ne bawonera watono okufa.   

Ababadde okumpi omusango bagutadde ku bagoba b'emmotoka zombi okudduka endiima n'okuyisizza awatasaanye.   

Waliwo n'abamaka agabadde okumpi Katonda b'ayambye olwa Prado okubuuka ekiseminti n'eyefuulira mu bbanga ne yekatta mu luggya nga yegalise emipiira giri wagulu.   

Kino kyagikendeezezza amaanyi n'etatuuka ku nnyumba ng'abadduukirize baayanguye okugivunulawo ne bayamba Fr Kasasa omukazi eyagibaddemu.     

Wabula abantu tebaakitegedde nti gwe bayamba Faaza naye ng'emmotoka yabaddemu kalonda w'ebintu ng'obutungulu, ensujju, ebikajjo b'ebirala nga baabadde bava ku lw'e Masaka boolekera Kampala.       

Oluvannyuma Poliisi mmotoka zombi yaziggyewo n'ezitwala ku wofiisi zaayo e Lukaya.   

Kyokka Faaza n'omukazi banuubuseeko naye ne bagaana okutegeeza ab'amawulire ebibakwatako 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...