TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Alumirizza owa poliisi okumukuba essasi n'atayambibwa

Alumirizza owa poliisi okumukuba essasi n'atayambibwa

Added 4th January 2019

Farida Nabwami mukyala wa Luwalaga yategeezezza nti bamaze ne bba emyaka 20 nga balina abaana bana nga bonna basoma. Yagambye nti bba talina muze gw’amumanyiiko era tasibwangako ng’okumukuba essasi yabadde atangira babbi kubba bantu.

 Luwalaga eyakubiddwa essasi ku kigere ng'apooca n'ekiwundu.

Luwalaga eyakubiddwa essasi ku kigere ng'apooca n'ekiwundu.

OMUSUUBUZI  abaserikale ba poliisi ennawunyi gwe baakubye essasi ng'ali mu bikujjuko by'okuyingira omwaka asabye abakulira poliisi okuyingira mu nsonga ze.

Tony  Luwalaga 36, ow'omu Ssebina zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe omusuubuzi  w'emmere mu katale ka Northern by Pass ku Kaleerwe  apooca na biwundu oluvannyuma lw'abaserikale ba poliisi abalawuna ebitundu okumukuba essasi mu kigere ekya kkono ne limuyitamu.

Luwalaga  yategeezezza nti abasuubuzi baategeka akabaga akayingira omwaka mu kifo we bakolera. Nga baakamala okuyingira omwaka ku ssaawa mu 7:00 ez'ekiro waliwo ekibinja ky'ababbi ekyali kigenda kikuba abantu nga kibabba  ekyawaliriza abantu okutemya ku poliisi wabula abaserikale bwe baatuuka baakozesa obukambwe bungi era omu ku ba poliisi yakokingirawo emmundu ekyaddako kumukuba ssasi.

Agamba nti oluvannyuma baamussa ku kabangali ne bamutwala ku nkulungo y'oku Kaleerwe kyokka baamulaba ali mu mbeera mbi ne bamuleka awo ne bamugamba afune abamutwala mu ddwaaliro.  Yagambye nti yagenze e Mulago n'afuna obujjanjabi nga kati ali waka takola kyokka bwe yagenze ku poliisi y'oku Kaleerwe  okuyingiza omusango abaserikale baaganyi.

Godfrey Bogere ssentebe  mu katale  Luwalaga  mwakolera yategeezezza nti Luwalaga talina mutawaana gwonna wabula omuserikale eyamukuba essasi yali atamidde.  Yagasseeko nti Luwalaga alina Famire ng'abakulira poliisi balina okuyingira mu nsonga banoonyereze omuserikale eyamukubye essasi.

Farida Nabwami mukyala wa Luwalaga yategeezezza  nti bamaze ne bba emyaka 20 nga balina abaana bana nga bonna basoma.  Yagambye nti bba talina muze gw'amumanyiiko era tasibwangako  ng'okumukuba essasi yabadde atangira babbi kubba bantu.

Luke Owoyesigyire omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano yategeezezza Bukedde ku ssimu nti teri ali waggulu w'amateeka, poliisi y'oku Kaleerwe bw'eba egaanye okuyamba Luwalaga agende ku y'e Wandegeya ensonga enoonyerezebweko bwe kinaazuulwa nti kituufu yakubiddwa wa poliisi essasi bajja kumunoonya avunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...