TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabasumba avumiridde ababaka ku tteeka ly'okusomesa abaana eby'omukwano

Ssaabasumba avumiridde ababaka ku tteeka ly'okusomesa abaana eby'omukwano

Added 4th January 2019

Yennyamidde olw’abantu abatamanyi Katonda ku mitima gyabwe ekivaako okukola ebikolobero kuba babikola tebalina kutya kwonna nga y’ensonga lwaki ebikolobero byeyongedde mu ggwanga

 Ssaabasumba Lwanga ku ntaana y'omugenzi Nviiri (mu katono) nga bategeka okumuziika.

Ssaabasumba Lwanga ku ntaana y'omugenzi Nviiri (mu katono) nga bategeka okumuziika.

SSAABASUMBA wa Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga mwennyamivu eri ababaka ba Palamenti abaayiisa etteeka ery'okutandika okusomesa abaana eby'omukwano mu masomero ky'agambye nti bigenda kwonoona abaana.

Ssaabasumba okwongera bino yabadde mu kuziika kojja we, John Nviiri 61, eyaziikiddwa ku kyalo Kaaso mu Ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti y'e Wakiso.

Yennyamidde olw'abantu abatamanyi Katonda ku mitima gyabwe ekivaako okukola ebikolobero kuba babikola tebalina kutya kwonna nga y'ensonga lwaki ebikolobero byeyongedde mu ggwanga era n'asaba abakungubazi okuyiga okusonyiwa kuba kye kintu kyokka ekitangira omuntu okwewala okukola ebikolobero.

Ayogedde ku mugenzi Nviiri n'agamba nti abadde muntu mukulu mu kika nga yeebuuzibwako ku nsonga ezimu era ng'abadde omuntu omutabaganya kuba abadde takirizza kulaba ng'abantu be basowaganye. 

Yeebazizza buli muntu akoze ekisoboka okulaba nga bajjanjaba omugenzi nga bamanyi nti wakuwoona naye Mukama n'amujjulula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...