TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti esise omuguwa ku by'okuggya Katuntu mu ntebe ya COSASE

Palamenti esise omuguwa ku by'okuggya Katuntu mu ntebe ya COSASE

Added 5th January 2019

Palamenti esise omuguwa ku by'okuggya Katuntu mu ntebe ya COSASE

Ssemuju Nganda, Rebecca Kadaga ate wansi ye Abdu Katuntu akulira akakiiko ka COSASE wabula nga kyasalibwawo dda nti akyusibwe oluvannyuma lw'aboludde oluvuganya Gavumenti okulonda Mubarrak Munyagwa

Ssemuju Nganda, Rebecca Kadaga ate wansi ye Abdu Katuntu akulira akakiiko ka COSASE wabula nga kyasalibwawo dda nti akyusibwe oluvannyuma lw'aboludde oluvuganya Gavumenti okulonda Mubarrak Munyagwa

SIPIIKA wa Palamenti, Rebecca Kadaga alemeddeko nti, Abdu Katuntu alina okusigala mu ntebe ng'akubiriza akakiiko aka COSASE okutuusa ng'amalirizza omulimu ogw'okubuuliriza ku bbanka ezaggalwa. "Tebalina kye bayinza kukola okuggyako nga nzikirizza. Nze nkulira Palamenti," Kadaga bwe yagambye n'agattako nti omulimu gw'okubuuliriza ku Bbanka Enkulu munene era gukolebwa ku lwa Bannayuganda.

N'agamba nti waliwo n'abaali bagenze ewa Pulezidenti Museveni nga tebaagala Palamenti ebuulirize n'amuwandiikira naye (Kadaga) n'amulaga obukulu obuli mu nsonga eno. Kadaga yategeezezza nti wadde abakulembera oludda oluvuganyabawakanya okwongera Katuntu obudde okutuuka nga February 20, 2019 naye akimanyi nti bye boogera byakukoma mu bigambo.

Kadaga yagambye nti tawakanya kya kukyusa bakulembeze ba COSASE naye akakiiko kalina okuweebwa obudde bamalirize okunoonyereza n'oluvannyuma bakyuse obukulembeze nga bwe baagala. Yawakanyizza n'ekirowoozo ky'okuteekawo akakiiko ak'enjawulo kamalirize ebya bbanka n'ategeeza nti, tewali kakiiko ka njawulo kayinza kuteekebwawo nga kaliko bammemba abawera 30.

Ekisanja kya Katuntu ku bwassentebe bwa COSASE n'omumyuka we, Annet Anita Among (mukazi/ Bukedea) kiggwaako nga January 13, 2019. Mu August w'omwaka oguwedde akulira oludda oluvuganya, Betty Aol Ocan yakyusa Katuntu n'amusikiza Mubarak Munyagwa (Kawempe South) ku bwassentebe ng'amyukibwa Moses Kasibante (Lubaga North).

Kadaga bwe yabadde aggalawo Palamenti nga December 20, 2018 yategeezezza nga bwe yabadde ayongezzaayo ekisanja kya Katuntu okutuusa nga February 20, 2019 kibasobozese okumaliriza okukola lipooti ku bya bbanka. Eky'okwongezaayo abakulira oludda oluvuganya baakiwakanyizza era Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira Munisipaali) Nampala w'oludda oluvuganya n'ategeeza nti tekijja kusoboka.

Yagasseeko nti bwe yataganjudde amateeka yakizudde nga tewali tteeka liwa Sipiika buyinza kwongezaayo kiseera kya kakiiko ekisanja kyako bwe kibeera nga kiweddeko. Muky. Aol yayanukudde Kadaga n'ategeeza nti ekirungi baddamu Lwakubiri okusisinkana era balinze balabe Sipiika bw'akola mu ngeri y'obwannakyemalira ku nsonga gye batakkaanyizzaako.

Bino we bijjidde ng'ababaka abatuula ku kakiiko ka COSASE batandise okwekenneenya bye baazuula okuva mu bakulira Bbanka Enkulu be baasisinkana. Mu bintu bye bali mu kwekenneenya mulimu ebyobugagga bya bbanka ezaggalwa, emitendera egyayitibwamu okuziggala, ssente ezaasigalawo gye ziri n'omulimu gwa ssekinnoomu mu kuggala bbanka zino. Bbanka ezaggalwa kuliko; International Credit Bank Limited, Greenland Bank, Uganda Cooperative Bank, Teefe Trust Bank, Greenland Bank, National Bank of Commerce, Global Trust Bank ne Crane Bank

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...

Nansimbi (owookubiri ku ddyo) ne bba Dr. Jjagwe ku gumu ku mikolo egisembyeyo mu bulamu bwe.

Nnaabagereka akungubagidde ...

OMUDDUGAVU eyasooka okukulira essomero lya Gayaza Junior School okuva mu 1975 okutuuka 1980, Berry Nansimbi Jjagwe...

Kabaka

Dr. Luyombya awabudde ku k...

DR. JACK Mukiibi Luyombya, omu basawo abakugu mu ddwaaliro lya Kampala Hospital era nga mukiise mu Lukiiko lwa...

Ssegirinya nga bamutwala mu kagaali.

Ssegirinya bamututte Nairobi

OMUBAKA wa Kawempe North omulonde, Mohammed Ssegirinya eggulo ku Ssande baamutadde ku ennyonyi eyamututte e Nairobi...

Ekikomera ekyassibwa ku malaalo ga Basudde (mu katono).

▶️ We baaziika Basudde kati...

NGA wayise emyaka 24 ng'avudde mu bulamu bw'ensi, aba famire y'omugenzi Herman Basudde eyali nnakinku mu kuyimba...