
Faza Bbuye ng'abatiza abaana e Lubaga
Bya Kizito Lawrence
AKULIRA lutikko e Lubaga Faaza Joseph Mary Bbuye akubirizza Bannayuganda okufuba okufuna Densite z'eggwanga basobole okutwalibwa nga Bannayuganda abatuufu.
Bino okubyogera abadde ayigiriza mu kitambiro ky'e missa ekibadde ku lutikko e Lubaga leero nga muno yabatirizaamu n'abaana 32.
"Abantu bwe babagamba okugenda okwewandiisa okufuna densite, bakitwala ng'ekyokuzannya ne bagayaala.
Wabula ekintu kino kikulu nnyo kubanga kye kiraga nti ensibuko yo eri mu Uganda. Toyinza kugenda ng'ogamba nti ndi Munnayuganda nga tolina kiraga era mwe mbakubiriza okugenda okwewandiisa mufune densite ezo." Bbuye bwe yabakubirizza.

Yayongeddeko nti eno ye nsonga lwaki mu Kleziya e Lubaga mulimu bendera ssatu okuli eya Paapa eraga obukatoliki, eya Uganda eraga nti abakatoliki abava mu Uganda n'eya Buganda eraga nti Kleziya eri mu kitundu kya Buganda.
Bbuye era yasabye abantu okulekeraawo obusosoze mu ddiini ne mu mawanga, n'agamba nti Katonda tasosola era ffena twenkana mu maaso ge.
"Muleme kwenyooma olw'amawanga gye muva ate muleme kusosola nakunyooma bantu bwe mutasoma ddiini emu kubanga Yezu bwe yali yeeyoleka yeeyolekera abantu bonna awatali kusosola." Bbuye bwe yategeezezza.
Yasabye abazadde abaabatizza abaana okubeera ekyokulabirako eri abaana bano mu bigambo nemu bikolwa basobole okukula nga baabuvunaanyizibwa ate abatya Katonda.