TOP

Dokita bamukutte lwa kusobya ku mulwadde

Added 7th January 2019

Omuwala bwe yalumbiddwa okuziyira(mulwadde wa asima), nnyina yamuddusizza mu kalwaliro akali okumpi.

 Omusawo Twesigomwe. Omuwala musawo Twesigomwe gwe yakase omukwano.

Omusawo Twesigomwe. Omuwala musawo Twesigomwe gwe yakase omukwano.

Omusawo yamutaddeko eccupa era oluvannyuma n'atereera. Kyokka mu kifo ky'okumusiibula adde eka, yamulumbye ku kitanda kwe yabadde n'amukaka omukwano.

Poliisi y'e Nabweru ekutte n'eggalira Dr. Julius Twesigomwe 29, akolera mu kalwaliro ka Nyange Medical Centre mu Kazo Central zooni II okumpi n'e Bwaise mu munisipaali y'e Nansana olw'okusobya ku muwala ow'emyaka 17 (amannya galekeddwa) eyatwaliddwaayo okumujjanjaba.

Ekisingako obubi, poliisi egamba nti yayanguye okutwala Dr. Twesigomwe n'akeberwa ne kizuulwa ng'alina siriimu.

Ku Lwokutaano oluwedde, omuwala yafunye okuziyira era n'aba bubi. Nnyina (naye amannya amalala galekeddwa) yamuddusizza mu kalwaliro akali okumpi.

Baatuuseeyo ku ssaawa 10 ez'olweggulo, era dokita n'assa omuwala mu kasenge n'amussaako eccupa. Maama w'omuwala nga mutuuze w'e Kawempe -Lugoba, okugenda mu ddwaaliro yavudde ku mulimu e Bwaise gy'atundira engoye.

Bwe yalabye omuwala agenda atereera n'amulekawo mu ddwaaliro n'addayo okuzingako engoye e Bwaise. Nnyina w'omuwala bwe yatuuse ku ddwaaliro yasanze akasenge mwe yalese muwala we nga kasibe.

Yakonkonye nga tewali kanyego n'atya nnyo. Yabuuzizza abajjanjabi ne bamutegeeza nti omuwala ali mu kasenge ne dokita.

Omuzadde yatudde wabweru era bwe waayiseewo akaseera, dokita n'aggulawo oluggi n'agamba: nsonyiwa obwedda nkuwulira ng'okonkona kyokka omuwala abadde azirise mbadde muwujja n'okukola ekisoboka okumuzza engulu. Era kati ateredde.

Nnayingidde mu kasenge Omwana nnamusanze ali bwereere nga talina wadde akawale k'omunda.

Yabadde akaaba kyokka nga bwe mubuuza tayanukula. Nnabuuzizza dokita nti omwana wange abadde ki? "Dokita yayanukudde nti tewali mutawaana, abadde azirise kyokka kati ateredde.

Oluvannyuma yahhambye buuza muwala wo akubuulire kubanga muntu mukulu. Ssasoose kuyomba kubanga waabaddewo abalwadde abalala.

Nnakebedde omwana wange ng'alina amazzi g'ekyama mu bisambi wano we nnategeeredde nti yabadde asobezeddwaako", omukyala bwe yannyonnyodde.

Ayongerako nti yasobeddwa eky'okukola, kyokka n'asaba abajjanjabi bamubuulire nnannyini ddwaaliro gy'ali.

Baamuwadde ennamba y'essimu ye n'amukubira Wabula n'amuddamu nti ali walako.

Omukazi yeekubidde enduulu eri Ssentebe wa LC1, Nasanairi Kiyimba eyazze ne bakwata Twesigomwe n'atwalibwa ku poliisi e Nabweru.

Yagguddwaako omusango gw'okusobya ku mwana ku fayiro SD: REF:37/04/01/2019 .

Omwana ne Dokita baabatutte ku ddwaaliro lya Jordan e Bwaise ne bakeberebwa ne kizuulwa ng'omuwala yabadde asobezeddwaako. Lipoota y'abasawo yalaze nti Dr.Twesigomwe alina akawuka akaleeta siriimu. Omuwala yaweereddwa eddagala eriziyiza okukwatibwa siriimu.

OMUWALA ANNYONNYODDE

Mu kasenge mwe bantadde twabaddemu n'omukyala nnakawere. Omukyala yasiibuddwa olwo mu kasenge ne nsigalamu nzekka ne dokita. Nnabadde sirina maanyi kyokka nga ntegeera bulungi.

Dokita yasoose kuggala luggi lw'akasenge mwe twabadde. Nnabadde ngalamidde ku kitanda.

Aliko ebintu ebiseerera ng'ebizigo bye yansiize ku mubiri ne mu bitundu by'ekyama, ekyaddiridde kunkozesa.

Wakati mu kikolwa nnawulidde maama ebweru ng'ampita naye nga sisobola kuyitaba kubanga dokita yabadde anneebaseeko ng'annyigirizza ku kitanda.

NNANNYINI DDWAALIRO AYOGEDDE

Dr. Ssemyalo yategeezezza Bukedde ku ssimu nti aludde ng'ajjanjaba famire eyo naddala abaana.

Omwana yaleeteddwa mu ddwaaliro nga nange (Dr. Ssemyalo) we ndi. Nnamulese Dr. Twesigomwe amujjanjaba.

Twesigomwe abadde yaakatwegattako omwezi gumu gwokka emabega era mbadde simanyi nti mulwadde.

Eby'okusobya ku mwana sibirinaako bukakafu wabula ndi mwetegefu okukwatagana ne famire y'omwana okugonjoola ensonga eno. Twesigomwe akuumibwa ku poliisi y'e Nabweru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...