TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Kiganda ne Bujingo kati balinnya mu kimu

Paasita Kiganda ne Bujingo kati balinnya mu kimu

Added 7th January 2019

PAASITA Bujingo aludde ng’agugulana ne musumba munne David Kiganda wabula okulwanyisa enteekateeka Gavumenti gy’eyagala okuleeta ku bannaddiini kubagasse.

 Paasita Kiganda ne Bujingo

Paasita Kiganda ne Bujingo

Ku mulundi ogusookedde ddala mu myaka egisukka etaano, Bujingo yasiimye Kiganda okuyita olukiiko lw'abasumba ku Imperial Royale ku Lwokuna mwe baasinzidde okuwakanya enteekateeka gavumenti gy'eyagala okuleeta okuluhhamya bannaddiini.

Mu nteekateeka eno mulimu okuwandiisa bannaddiini n'okussaawo ebisaanyizo bye balina okubeera nabyo omuli n'okutendekebwa mu by'eddiini.

Bujingo yagambye nti olw'obumu obwayoleseddwa Kiganda ng'agatta abasumba abalala, kye kiseera abasumba okwegattira awamu naddala ku nsonga ezibanyigiriza.

Kyokka yalumirizza omusumba Joseph Serwadda owa Victory Christian Centre mu Ndeeba nti yeekobaana ne Minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa Faaza Simon Lokodo okubaga enteekateeka eno.

Wabula bino Serwadda aludde ng'abyegaana ng'agamba nti talina kakwate ku kuleeta nteekateeka eno, wadde ng'ebimu ku bigirimu akkaanya nabyo.

Kigambibwa nti enteekateeka eno erimu Faaza Lokodo wamu ne Rev. Can. Aaron Mwesigye avunaanyizibwa ku by'eddiini mu Minisitule y'okukwasisa empisa n'obuntubulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu