TOP

Ssente zitabudde ab'ebivvulu bya Bobi Wine

Added 7th January 2019

Abategesi b'ebivvulu ne bapulomoota batabuse olwa ssente Gavumenti ze yabaliyiridde olw'okusazaamu ebivvulu bya Bobi Wine olw'abamu obutafuna ku ssente zino.

 Dick owa Dick Production (ku kkono)m ne Tonny Sempijja nga bali e Gaba.

Dick owa Dick Production (ku kkono)m ne Tonny Sempijja nga bali e Gaba.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA


SSENTE Gavumenti ze yaliyiridde bapulomoota abaafiirwa olw'okuwera ebivvulu bya Bobi Wine zitabudde abategesi baabyo, bapulomoota, abakulira abayimbi ne bannakatemba.

Abatabuse bonna baasooka kukaabira wamu ne basaba Gavumenti ekkirize ebivvulu bya Bobi Wine gwe baali bataddemu ssente oba si kyo ebaliyirire. Wabula ssente bwe zazze abamu ne babula ku bannaabwe.

Juma Balunywa owa Balunywa Promotions Ltd. nga y'omu ku baasooka okutegeka ebivvulu bya Bobi Wine ku Colline Hotel e Mukono era ebimu ku byasookerwako okugaanibwa mu July wa 2018, ataamidde banne bwe baludde nga banoonya amakubo agabatuusa ewa Pulezidenti Museveni okumusaba abaliyirire ku ssente ze bafiiriddwa.

Balunywa agamba nti beerondamu abantu be baasindika ew'omukulembeze, nti wabula yeekanze wiiki ewedde nga ssente zigabwa e Mutundwe ku Serene Suites ate ng'abali mu mitambo okuli Andrew Benon Kibuuka akulira abayimbi ne bannakatemba, Tonny Ssempijja akulira ekibiina kya UMP-NET ekigatta abategesi b'ebivvulu ne bapulomoota n'abaakiikiridde minisitule y'ekikula ky'abantu etwala abayimbi balina abantu be bataayise kusasulwa ate nga nabo baafiirwa.

Be bataawadde ssente kuliko: JJ Events, Bakiddaawo, eyategeka ekivvulu e Gulu, e Wobulenzi n'ekivvulu kya leediyo ya Big e Mbale.

ABAAWEEREDDWA SSENTE

1 Dick Productions eyagamba nti yafiirwa obukadde 150 nga yasingayo n'ennyumba ye e Makindye mu ‘bamanelenda' ng'ategese ekivvulu e Ggaba ku Ssekukkulu n'e Kavumba ku Lusooka omwaka ne biyiibwa.
2 Pulomoota Fifi eyali ategese e Mubende n'omulala eyategeerekeseeko erya Yasin.
3 Emma Serugo ne Kaweesi abaali bategese eky'e Namboole ekya Kyarenga mu October wa 2018 nabo baaweereddwa ssente.
4 Bakanyama ba UUBA security aba Tonny Ssempijja abaagamba nti Bobi Wine teyabasasula mu kivvulu kya Kyarenga e Busaabala nabo baasasuddwa.
5 Sarah Nassuuna, ono yakubwa puleesa nga December 5, 2018 ku poliisi e Naggulu olwa poliisi okugaana ekivvulu kye yali ategese e Nakawuka teyafunye, wabula Ssempijja yategeezezza nti ensonga ze bazikolako.

Andrew Benon Kibuuka annyonnyodde

Abantu abaaleeta ebiwandiiko beebo abaasasuddwa. Pulojekiti eno yakulemberwa Tony Ssempijja eyasaba beewandiise, baaleeta n'obujulizi kwe babanjiza. Naye abantu tebaamutwala siriyaasi ne balaba nga byakupangirira. Baamala kuwulira nti ssente zaafunise ne baggyayo enjala.

Ate n'ebivvulu ebyatunuulirwa byebyo ebyaliwo mu nnaku za Ssekukkulu. Ebivvulu bya Balunywa by'emabegako wadde sigamba nti ye talina kusasulwa naye era teyaleeta mpapula. Ensobi gye ndaba, tetwebuuza ku bakulembeze ba Fire Base abatwala Bobi Wine n'ebivvulu bye ku bantu ki abaagula ebivvulu bye.

Twalowooza tebajja kukifaako kubanga byali bikwatibwako Gavumenti. Minisita w'eggwanga ow'ekikula ky'abantu, Peace Mutuuza era gwe twayitiramu ebizibu byaffe n'abitwala ewa Pulezidenti ne tufuna ssente.

Tonny Ssempijja by'agamba

Bammemba abali mu kibiina kya UMP-NET bokka be baafunye. Abataafunye tetubamanyi mu kibiina era twandibasanze wa nga tebeewandiisa. Nze nakola pulaani yonna nga nnoonya bwe tufuna ssente ezo era bwe twazifunye twazigabidde bannannyinizo.

Oyo Balunywa ebivvulu ebibye byali wala nnyo mu July ate nga twasinze kufa ku ebyo ebyagaanibwa mu nnaku enkulu. Abalala abataafunye nabo tebeewandiisa oba si bammemba ba kibiina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.