TOP

Bakutte abatunda zaabu ow'ebicupuli

Added 7th January 2019

Poliisi ekoze ekikwekweto ku kkampuni ezisuubula n'okutunda zaabu n'ekwata abafera abantu nga babaguza zaabu ow'ebicupuli.

 Anton Chsherbakov okuva mu ggwanga lya Kazakhstan yakwatiddwa mu bifere.

Anton Chsherbakov okuva mu ggwanga lya Kazakhstan yakwatiddwa mu bifere.

Bya Eria Luyimbazi


POLIISI ekoze ekikwekweto ku kkampuni ezisuubula zaabu nga kigambibwa nti bannyinizo babadde bazikozesa okufera abantu ssente eziri mu buwumbi.
Kino kiddiridde abamu ku bantu abaaferebwako ssente zaabwe nga balimbiddwa nti babaguzizza zaabu okwekubira enduulu ku poliisi ne ofiisi ez'enjawulo, nga bwe waliwo abafere abaggulawo kkampuni mwe basinziira okubabbako ssente zaabwe nga babalimbye nga bwe babaguzizza zaabu.


Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Vincent Ssekate yategeezezza nti waliwo abasajja abaawandiisa kkampuni ez'enjawulo era ne bafuna ne satifikeeti nga beefudde abatunda zaabu kyokka ne bakomekkereza nga babbye abantu.


"Okunoonyereza kwakoleddwa ku kkampuni ssatu okuli; Benal group ne Transmwani ezisangibwa e Muyenga ne Mabasha Africa Logistics International Ltd esangibwa e Bugoloobi. Zino zirina layisinsi wabula ng'abaziddukanya babeemulugunyaako olw'okufera abantu."
Yambye nti mu kikwekweto baakwatiddemu bannansi b'e Congo okuli  Jeanot Imiakani Bokwete, Kelvis Essoa ne Thiery Baraka Mugisha ssaako  Anton Chsherbakov okuva mu ggwanga lya Kazakhstan, era bano bazziddwa mu mawanga gwabwe.


Bano baakwatiddwa ne Bannayuganda Abel Omonoi ne Moses Mperekezi.
Ssekate yagambye nti abafere bano bawandiisa kkampuni zaabwe era ne bafuna satifikeeti, oluvannyuma ne bagiteeka ku mutimbagano nti bagula zaabu, era abakolagana nabo tebamanya nti bakolagana na bafere.
Yagambye nti omuntu gwe basikiriza okuva ebweru w'eggwanga okujja okugula  zaabu bamutwala mu kifo we bagamba nti we bamusaanuusiza nga bamulaga omutuufu gw'asooka okutwalako oluvannyuma ne bamusaba ssente okumuwa zaabu omulala.


Yagambye nti abafere bano bakolagana ne bannamateeka naddala mu kubaga endagaano kwe balimbira nti batunda era ng'abamu poliisi yafunye ebibakwatako kuba amannya gaabwe galabikidde ku ndagaano abafere bano kwe babbidde ssente ku bantu.
Ssekate yasabye abaagala okugula zaabu beekwate ebitongole ebyokwerinda ebisobola okukebera ebikwata ku kkampuni ezisuubula n'okutunda zaabu.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.