TOP

Ekivvulu kya David Lutalo kyengedde

Added 7th January 2019

Ekivvulu kino ekitumiddwa David Lutalo live in Nakusiima kya January 25 Cricket Oval e Lugogo

 okuva ku kkono: Ivan Lukwago

okuva ku kkono: Ivan Lukwago

OMUYIMBI David Lutalo takyebaka. Asiiba n'okusula ng'awawula ddoboozi atuuke ku Lwokutaano nga January 25, nga teririimu wadde akasaaniiko.

Ng'ayanjula enteekateeka z'ekivvulu kye mu butongole mu lukung'aana lwa Bannamawulire olwatudde ku kitebe kya Vision Group leero.

Maneja we Ivan  Matovu yasoose okwogera nategezza ng'omuyimbi we bw'ali mu mbeera ennungi era ennaku akeera mu jjiimu kusala amasavu n'okutendekebwa okwa kaasammeeme

Oluvannyuma Lutalo abadde ayogezza amaanyi atandise na kuyimba ‘akapeera' ka luyimba lwe olwa Wooloolo agambye nti kino kye kivvulu ekiggulawo omwaka n'olwekyo buli muntu anyumirwa omuziki tasaanye kusubwa.

Eddy Ssendi ku lwa Musa Kavuma omutegesi ategezezza nga buli kimu bwe kiwedde era eby'okwerinda bigenda kubeera binywevu nga bikulembeddwamu Uganda poliisi, siteegi n'ebyuma byamulembe era essawa yonna tikiti zigenda kugenda ku katale okwewaala akanyigo okuzigula ku lunaku lw'ekivvulu.

Ekivvulu kino ekitumiddwa David Lutalo live in Nakusiima kigenda kubeera Cricket Oval e Lugogo okuyingira 20,000/- ne 50,000/-.

Ku Lwomukaaga ali ku Colline Hotel e Mukono ate ku Ssande abeere ku kisaawe e Luweero ate nga February 14 ku Freedom City. Vision Group afulumya ne Bukedde be bamu ku bawagidde ekivvulu kino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...