TOP

Eddwaaliro lya Nyange Medical liggaddwa

Added 8th January 2019

EDDWAALIRO lya Nyange Medical Centre liggaddwa nga poliisi enoonyereza ku musawo gwe balumiriza okusobya ku muwala mu kasenge k’abalwadde.

Eggulo poliisi yazzeeyo ku ddwaaliro lino okwongera okwaza n'okukuhhaanya obujulizi. Eddwaaliro lino liri Kazo mu Central Zooni B mu Wakiso.

Ku Mmande, tiimu y'abaserikale abakola ku kunoonyereza ku misango ku poliisi y'e Nabweru nga bali ne maama w'omwana (amannya galekeddwa) baagenze ne bakuba eddwaaliro ebifaananyi n'okukola okubuuliriza okuva mu bakulembeze n'abatuuze b'ekitundu kino, oluvannyuma eddwaaliro ne liggalwa okwewala okutaataaganya okunoonyereza.

Oluvannyuma bazzeeyo ku poliisi ne bagatta bye baazudde ku fayiro y'omusango gw'okusobya ku muwala ow'emyaka 17.

Omusawo w'eddwaaliro eryo Julius Twesigomwe 29, gwe balumiriza okusobya ku muwala eyabadde agalamiziddwa mu kasenge k'abalwadde oluvannyuma lw'okulumbibwa obulwadde bwa asima (nga tassa bulungi).

Deus Maniragaba akulira bambega ba poliisi abanoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi y'e Nabweru, Twesigomwe gy'akuumirwa, yagambye nti okunoonyereza okusooka ku musango ogumuvunaanibwa kwawedde era ekiseera kyonna atwalibwa mu kkooti e Nabweru.

Yayongeddeko nti waliwo n'omusaayi ogwamuggyiddwaako ne gutwalibwa e Nagguru mu kkeberero lya Gavumenti kyokka n'agamba nti gwo gwakutwala ekiseera ekiwerako kyokka kino tekigenda kulemesa kkooti kugenda mu maaso.

Ye Nanyanzi maama w'omwana yakukkulumidde nnannyini ddwaaliro okumulekerera mu kiseera kino kuba talabikako kyokka nga waliwo ebyetaagisa ssente tazirina.

Nsabibwa ssente abaserikale basobole okutwala omusaayi gwa dokita e Naguru ku terekero lya Gavumenti naye sizirina kyokka dokita nnannyini ddwaaliro talabikako.

Omwana wange eddagala lye yaweereddwa okuziyiza okufuna akawuka akaleeta siriimu n'olubuto lya maanyi, abeera yeetaga okulya n'okunywa ennyo asobole okufuna amaanyi naye sirina busobozi.

Nsaba minisita w'abaana Florence Nakiwala Kiyingi, ebitongole n'abantu sekinoomu okunziruukirira n'obuyambi obwenjawulo mu musango guno kuba omwana embeera gy'alimu yeeraliikiriza.

Dr. James Ssemyalo, nnannyini ddwaaliro yagambye nti akolagana bulungi ne poliisi mu kunoonyereza era ye yalagidde n'omusawo we akwatibwe bamunoonyerezeeko.

Dr. Katumba Ssentongo Gubala akulira akakiiko akalondoola enneeyisa y'abasawo (Medical Council) yasabye abalwadde n'abakulembeze mu bitundu okubaloopera abasawo abeeyisa obubi mu "kiriniki" n'amalwaliro amanene bakangavvulwe okwewala obusiiwuufu bw'empisa obutuusa n'abasawo okusobya ku balwadde baabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Safinah Kwikiriza ng'alaga okugulu okumuluma.

Asaba buyambi bamulongoose ...

OMUWALA ow'emyaka 19 eyalwala ekizimba ku kugulu okwakkono ne bakwokya nga  kutanye  ate ne kuvunda alaajanira...

Pulezidenti Museveni ng'alambuza Akon ne mukazi we ente ze.

Omuyimbi Akon alambudde ffa...

Omuyimbi Akon ne mukyala we Rozina bakyanyumirwa bulamu mu ggwanga lyaffe liyite ‘Ekkula lya Africa''. Oluvannyuma...

Polof. Samuel Kyamanywa ne Paul Mwambu nga bakebera ku lumonde ono. Ekifaananyi kya Agnes Nantambi.

Bazudde ekika kya lumonde o...

Aba Makerere University bakoze akuuma akakebera akawuka akalya lumonde ne bazuula ne kika kya lumonde ali ku ttunzi ...

Nabbaale

Omugagga Nabbaale akungubag...

OMUGAGGA Teopisita Nabbaale owa Maria And Jesus ekola wayini agamba nti yatandika okulaba omugenzi Dr. Cyprian...

Emirango n'ebiwoobe bibuuti...

Emirango n'ebiwoobe bibuutikidde lutikko e Lubaga mu kuziika Ssaabasumba Lwanga