TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obunkenke bweyongedde e Congo nga balinda okulangirira akalulu k'Obwapulezidenti

Obunkenke bweyongedde e Congo nga balinda okulangirira akalulu k'Obwapulezidenti

Added 8th January 2019

OBUNKENKE bweyongedde mu DR Congo nga balindirira akakiiko k’ebyokulonda okulangirira ebyavudde mu kulonda.

Congo, MMANDE

We bwazibidde eggulo nga tebannaba kutegeeza lunaku lutuufu lwe bagenda kulangirira.

Baabadde basuubira kulangirira omuwanguzi mu kalulu kano ku ku Ssande, kyokka ku Lwomukaaga nga wabulayo ssaawa busaawa olunaku lwa Ssande lutuuke, abakulira akakiiko ne bategeeza nti baabadde baakakuhhaanyaako makkati ku bye basuubira, ekiyinza okuzibuwaza okulangirira ebyavudde mu kulonda.

Akulira akakiiko, Corneille Nangaa n'ategeeza nti babisuubira wiiki eno kyokka teyawadde lunaku lutuufu.

Abaavuganyizza mu kalulu kano baabadde 21 kyokka kuliko basatu abatunuuliddwa okuvaako omuwanguzi. Bano kuliko Pulezidenti Joseph Kabila gwe yasimbawo; Emmanuel Ramazani Shadary n'abali ku ludda oluvuganya okuli Felix Tshisekedi ne Martin Fayulu.

Eklezia katolika wiiki ewedde yatuuzizza olukuhhaana lw'abamawulire ne bategeeza nti baateekawo abatunuulizi ababadde balondoola okulonda kuno kyokka okusinziira ku bye bazudde, omuwanguzi yeeyoleka dda ne bakubiriza gavumenti by'ekola ebikole mu mazima erangirire omutuufu.

Wiiki ewedde Amerika yasindise amagye gaayo okukuuma bannansi baayo n'ebintu eby'omugaso bye balina mu Dr. Congo.

Olw'embeera eriwo abamu ku bannansi bafulumye Congo ne baddukira mu mawanga ag'omuliraano nga Rwanda ne Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...