TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti etandikidde ku kuteesa ku bulwadde bwa kkolera obuli mu Kampala

Palamenti etandikidde ku kuteesa ku bulwadde bwa kkolera obuli mu Kampala

Added 10th January 2019

Palamenti etandikidde ku kuteesa ku bulwadde bwa kkolera obuli mu Kampala

PALAMENTI yazzeemu okutuula eggulo oluvannyuma lw'eggandaalo lya Ssekukkulu ng'ababaka baatuukidde mu kuteesa ku bulwadde bwa kkolera obuzinze Kampala.

Dr. Joyce Moriku Kaducu minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by'obujjanjabi ebisookerwako yasinzidde mu Palamenti eggulo n'ategeeza nti obulwadde bwa kkolera bwabadde buzuuliddwa mu muluka gw'e Kabowa mu Munisipaali y'e Lubaga ne Bukasa mu Munisipaali ye Makindye.

Yategeezezza nti Gavumenti yataddewo ekifo ekyenjawulo mu ddwaaliro lye Naggulu awagenda okujjanjabirwa abantu bonna abateeberezebwa okubeera ne kkolera n'abaana bazuuliddwa nga bamulina.

Kigenda kutwala essaawa eziri wakati wa 24 okutuuka ku 48 okufulumya ebinaaba bivudde mu kukebera ateeberezebwa okuba ne kkolera. Wateereddwawo emmotoka ya ambyulensi egenda okutambuza abalwadde abateeberezebwa okuba ne kkolera okusobola okubatuusa mu ddwaaliro e Naggulu. Ambyulensi eno ekola essaawa 24 ng'abagivunaanyizibwako kuliko; Willy Musisi ali ku nnamba 0794661082 ne Molly Tusiime ali ku nnamba 0794661134.

Okunoonyereza kulaga nti obulwadde buno buva ku bantu abamansa kazambi. Amayumba agalina kaabuyonjo nga n'agamu gaazimbibwa ku myala. Eddagala erijjanjaba kkolera lyongeddwako obungi e Naggulu ne Kiruddu.

Disitulikiti zonna eziriraanyeewo zirabuddwa okubeera obulindaala kubanga kyangu obulwadde buno okubalumba. Moriku yawadde abantu amagezi okukozesa amazzi amayonjo, okukozesa kaabuyonjo bulijjo, okunaaba mu ngalo ne ssabbuuni.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...