TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bad Black azzeemu okufuna ssente kati asula mu Sheraton

Bad Black azzeemu okufuna ssente kati asula mu Sheraton

Added 12th January 2019

BAD BLACK ng’amannya ge amatuufu ye Shanita Namuyimbwa akomyewo akamirwa bina. Afunye Omumerika amutaddemu omusimbi kw’aguze Benz kati mw’aliira obulamu n'esswagga.

Black ng'ennaku zino asiiba mu Kampala ng'alya obulamu agamba yafunye omusajja omulala ku luno nzaalwa ya Amerika bwe bali mu laavu enzito era amunaazizzaako amaziga n'ennaku by'abadde ayitamu.

Ono gwe twasanze ku Sheraton Hotel gy'asula ne mutabani we Jonah (ali mu katambi ka woduloopu akasaasaanye ennaku zino ku mikutu gya social media) agamba nti wadde azzeemu okufuna ssente, ku mulundi guno agenda kuzirya na buvunaanyizibwa era teyeetaaga ‘bawuzzi' ba bunyama.

"Ababadde balowooza nti Black yaggwamu era nti tajja kuddamu kufuna ssente mbasekeredde. Olweza lwe bannaaza lwanoga nkomyewo buto kujooga naye ku luno saagala nnyo bawuzzi ba bunyama ku mulundi guli mwandiisa bubi ssente zange."

Black abadde yadda ku bigere, era okukakasa nti ddala yafunye ssente ne Benz ekika kya ML 350 4matic kati gy'avuga yiye ye yagyegulidde.

Yatulaze ne kaadi yaayo ng'eri mu mannya ga Shanita Namuyimbwa.

Black ajjukirwa nnyo wakati wa 2009 ne 2012 bwe yamansa ssente Omungereza David Greenhalgh eyali muganzi ze yamuwanga okwali n'obuwumbi 11 ezaamusibya e Luzira.

ALI LUBUTO

Bwe yabuuziddwa ku laavu ye n'Omumerika, Black yagaanyi okwogera amannya ge n'agamba nti omusajja yaakamufuna era tannaba kwagala kumwasanguza mu lujjudde kyokka yategeezezza nti olwa laavu n'omusimbi by'amuwa ayagala kumuzaalirayo omwana era ali lubuto lwa myezi esatu ng'essaawa yonna agenda mu Amerika omusajja gye bamuzaala.

YEETONDEDDE PULEZIDENTI MUSEVENI

Wadde nga Black musanyufu olw'embeera ye okuddamu okutereera, ono agamba nti waliwo abantu abamumazeeko emirembe abeeyita ab'ebyokwerinda abamukubira essimu ez'okumukumu nga bamutiisatiisa okumukwata olw'akatambi ke yeekwata ng'alumba Pulezidenti Museveni n'okuvvoola ekitiibwa kye mu biseera we baasibira Bobi Wine.

Wano we yasinzidde okwetondera Pulezidenti Museveni obwedda gw'ayita taata ne Jjajja ng'agamba nti obwavu bwe bwamukozesa kino ate n'aba People Power abaali bamuyinudde tabalabamu mulamwa.

"Akatambi nakakola ndi Dubai gye mbadde mu kweyiiya era bansuubiza emitwalo gya ddoola 10 olw'erinnya lyange nga sereebu kyokka bampaako emitwalo 2 ne balansi simufunanga.

Ekituufu kiri nti nze ndi wa NRM era mpagira Pulezidenti Museveni ku myaka gyange 29 ye mukulembeze gwe naalabyeko era atukulembedde bulungi. Bobi Wine owa ‘People power' simuwalana naye mwagala ng'omuyimbi ate ndowooza abantu b'e Kyadondo East bakyamwetaaga okubakiikirira."

 

ABAVUBUKA BATANDISE OKUMWEPIKIRA

Nga bw'eri nkola y'abavubuka abamu mu Kampala okunoonya abakyala abalina ssente ne babaganza, ne Bad Black olutegedde nti yazifunye batandise okumwepikira n'okumutambulirako buli gy'alaga abalala nga bwe bawaga nti baagala kumutuusa ku ntikko.

Ate abavubuka abalala abamanyi okukola ssente bangi batandise okumutuukira nga baagala kumuguza mayumba n'emmotoka ez'ebbeeyi nga bwe baamukolanga mu kiseera we yajoogeranga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...