TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkamera za Bbanka Enkulu zaanise abanene abalala

Kkamera za Bbanka Enkulu zaanise abanene abalala

Added 12th January 2019

KKAMERA ezaaleeteddwa mu Palamenti okulaga engeri omukungu wa Bbanka Enkulu, Justine Bagyenda gye yeetikka ebiwandiiko bya Gavumenti zaanikiddemu abanene abalala omuli ne looya w’omu Kampala gwe zaalaze nga naye akukusa ebiwandiiko bya Bbanka Enkulu.

 a gyenda mu kakiiko

a gyenda mu kakiiko

Ababaka ba Palamenti abaakakiiko aka COSASE akakulirwa, Abdul Katundu baawuniikiridde nga kkamera ziraga engeri Bagyenda gye yakukusa ebiwandiiko bya bbanka ku lunaku olwa Ssande olutali lwa kukola mu Gavumenti.

Akatambi kaalaze omukuumi wa Bagyenda, Juliet Adikot ne ddereeva we Job Turyahabwe nga bafulumya ebisawo omuli ebiwandiiko n'ebintu bya bbanka enkulu bingi nga tebaaziddwa ng'amateeka bwe galagira.

Ng'oggyeeko okuba nti ensawo tezaayazibwa kyokka era byafulumira mu mulyango ogutali gwa bulijjo. Byaliwo ku Ssande nga March 11, 2018.

Waliwo n'akatambi akalala akaakwatibwa nga March 4, 2018 ng'emmotoka ya Bagyenda mwe yali ne Adikot ne Turyahabwe ng'eyingira Bbanka Enkulu.

Waliwo n'akatambi akaakwatibwa nga February 4, 2018 nga waliwo emmotoka bbiri ezaayingira mu Bbanka Enkulu mu biseera eby'enjawulo ne muvaamu abasajja babiri okuli n'omuyindi ne beesogga Bbanka Enkulu.

Ekimu ku kyewuunyisizza ababaka kwe kubeera ng' emmotoka zino mu kuyingira zaasanga Adikot azirindiridde ku mulyango era abaazirimu ye yabakulemberamu okubatuusa ku Bagyenda.

Mu kwewozaako Bagyenda yategeezezza nti emmotoka emu yalimu munnamateeka Timothy Masembe Kanyerezi owa kkampuni ya MMAKS emu ku ziwolereza Bbanka Enkulu.

Emmotoka eyokubiri yalimu Ashwini Kumar eyali akulira bbanka ya Baroda nga bonna baali balina ebibaleese eby'enjawulo.

Yagambye nti ekyamusisinkanya abakulu bombi ku lunaku lwa Ssande olutaali lwa kukola lwa nsonga nti mu kiseera ekyo yali mu luwummula era obwo bwe budde bwe yafuna.

Masembe alabibwa ng'ayingira ofiisi ya Bagyenda ng'akutte ensawo ewewuka, kyokka mu kufuluma erabika ng'ezitowa okusinga bwe yayingidde era kiteeberezebwa nti yatwaliramu ebintu.

Bagyenda yasanze akaseera akazibu akulira ebyokwerinda mu Bbanka Enkulu, Milton Opio bwe yamulumirizza nti yali akimanyi bulungi nti takkirizibwa kusisinkana bagenyi mu budde obutali bwa kukola.

Opio yalumirizza nti okumanya Bagyenda n'omukuumi we baalina omupango gw'okufulumya ebiwandiiko by'ekitongole, Adikot yasooka kulabibwa ng'alabiriza okukakasa nti tewali mukuumi anaamwaza era ng'aliko n'omuntu gwe yayogeranga naye ku ssimu.

Ku kye bisawo ebisatu ebyafulumizibwa nga March 11, yagambye nti byalimu bifaananyi bye awamu n'ebiwandiiko bye ng'omuntu.

Eky'obutayazibwa teyabimanya kuba we baabifulumiza yali asigadde mu ofiisi. Bagyenda yagambye nti obutayazibwa tegwali mulimu gwe kuba yeeteekangawo okumwaza, kyokka abavunaanyizibwa ne batafaayo.

Adikot obwedda ayogeza obukambwe yagambye nti yasalawo okuggula geeti ng'emmotoka ya munnamateeka Masembe ng'eyingira wadde si buvunaanyizibwa bwe kuba tewaaliwo mukuumi wa kubiri ayambako.

Tumubweine Twinemanzi eyaddira Bagyenda mu bigere yayongedde okukomerera Bagyenda bwe yategeezezza nti wadde amateeka gakkiriza abakungu ba Bbanka

Enkulu okuyingira ekiseera kyonna, kyokka tebakkirizibwa kuyingiza bagenyi mu ssaawa ezitali za kukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono