TOP

Katikkiro asoomozezza abasiraamu ku by'okuzaala

Added 14th January 2019

Katikkiro asoomozezza abasiraamu ku by'okuzaala

 Katikkiro Mayiga ng’abuuza Omulangira Kasim Nakibinge. Ku ku kkono ye Supreme Mufti Ndirangwa, ne muto wa Nakibinge Omulangira Kalifan Kakungulu.

Katikkiro Mayiga ng’abuuza Omulangira Kasim Nakibinge. Ku ku kkono ye Supreme Mufti Ndirangwa, ne muto wa Nakibinge Omulangira Kalifan Kakungulu.

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga akubirizza Abasiraamu okukoppa omugenzi Sheikh Ahamad Mukasa eyazaala abaana abangi n'agattako okubaweerera era bangi balina emirimu egy'obuvunaanyizibwa mu ggwanga.

Mayiga yagambye nti okuzaala abaana abangi tekyandibadde kibi kasita oba ng'obazadde n'otuukiriza obuvunaanyizibwa bwo okubalabirira n'okubasomesa.

Yagambye nti ssinga abaagala abaana abangi bakoppa Sheikh Mukasa, abaana baabwe bajja kuba babatemedde empenda ennungi eziyinza okubafunyisa ebifo ebisava e Mmengo ne mu gavumemnti eya wakati.

Okwogera bino, Katikkiro yabadde mu dduwa y'okusabira Omugenzi Sheikh Mukasa ku Ssande mu makage e Mmende mu Busiro.

Edduwa eno eyajjumbiddwa ennyo Abasiraamu abaavudde okumpi n'ewala, abakungu okuva e Mmengo n'ababaka ba palamenti, okwabadde ow'ekitundu kino, Merdard Ssegona, Katikkiro yagambye nti omugenzi Mukasa yaliko eby'okuyigirako bingi omuli okuzaala ennyo ate n'atuukirizza obuvunaanyizibwa bwe okubalabirira n'okubaweerera.

"Mukadde waffe ono, kyakulabirako kirungi nnyo, kubanga teyakoma ku kuzaalabuzaazi kyokka naye yafaayo okukola ennyo n'abatuusaako ebyetaago ng'abaana omuli okubasomesa," Mayiga bwe yategeezezza.

Eri Omusika Hajji Nordin Mpanga, yamuwadde amagezi okukulembera obulungi banne awatali kubasosola nga kitaabwe bw'abadde abayisa. Ye Omulangira Kassim Nakibinge naye yatenderezza Sheikh Mukasa gwe yayogeddeko ng'omusajja eyali omuzira mu kulwaanirira eddiini y'Obusiraamu wadde mu kaseera akazibu.

Nakibinge yagambye nti Sheikh Mukasa tabadde nga Bamaseeka abamu abalinga embuzi ng'oli agiteekamubuteesi muguwa n'agitwala gy'ayagala. "Mukadde waffe ono yafa n'ekitiibwakye era nsaba Allah amusasulemu ekisinga obulungi kubanga abadde takozesebwa nga mbuzi," Nakibinge bwe yategeezeza.

Ate Supreme Mufti Sheikh Kasule Ndirangwa yayogedde ku Sheikh Mukasa ng'omusajja eyali ayagaliza ennyo Obusiraamu nti era y'ensonga eyamuzimbya amasomero e Mmende gasobole okusomesa abaana Obusiraamu.

Ndirangwa yayogedde ku ky'okwegatta kw'Obusiraamu n'agamba nti ye n'abo bwe bakulemberera e Kibuli, tebasobola kwegatta na muntu yatunda mmaali ya Busiraamu nga tasoose kugikomyawo.

Sheikh Nuuhu Muzaata Batte eyabadde kalabaalaba w'omukolo yagambye nti Abasiraamu bonna ne bwe banaagenda ne baggwaayo e Kibuli, bbo bajja kusigala ku mulamwa kubanga balina ensonga enkulu ezaabaawakanya ku bantu abatunda ebintu by'Obusiraamu.

Omugenzi Mukasa yaliko Mufti wa Uganda mu myaka gya 90. Yazaala abaana 50 kyokka waafi - iridde nga waliwo 43 era abasinga baasoma nga balina diguli ne dipulooma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...