TOP

Poliisi ezzeemu okukwata Lwakataka n'emuggalira

Added 14th January 2019

Poliisi ezzeemu okukwata Lwakataka n'emuggalira

 Ponsiano Lwakataka

Ponsiano Lwakataka

POLIISI e Mukono ekutte n'eggalira omuvuzi w'emmotoka z'empaka, Ponsiano Lwakataka, ng'emuvunaana okumenya ebizimbe n'okwonoona ebintu ebiri ku ttaka ly'akaayanira n'abatuuze e Kiwanga - Lwanda mu divizoni y'e Goma mu Munisipaali y'e Mukono.

Lwakataka yakwatiddwa ku Lwomukaaga oluvannyuma lw'abatuuze abaakulembeddwa Joseline Namanya okumuwawaabira.

Bukedde yasanze Lwakataka ku poliisi e Mukono mu kifo we basunsulira abasibe ng'atudde ku katebe wamu n'abamu ku banne abaabadde bazze okumulaba ng'ayambadde essaati emyuufu nga mulimu obukuubo obweru, empale ya Jean, ssaako n'obusitookisi era oluvannyuma lw'okwogerako ne banne yazziddwaayo mu kaduukulu.

Kigambibwa nti ku Lwomukaaga ku ssaawa 10.00 ez'akawungeezi, Lwakataka ne banne abakyanoonyezebwa baalumbye ekikomera kya Namanya ne bakikoona.

Okusinziira ku Anthony Logonvu, omu ku balina poloti ku ttaka lino, Lwakataka ly'akaayanira, yagambye nti ettaka lino lyali lya mugenzi Antonio Kiggundu nga lyali liweza yiika bbiri kyokka bwe yafa nnamwandu Goretti Nannonzi ne bamulekwa, baasalawo okutunda ettaka lino nga yiika emu baagiguza George William Kaawaayo ate eddala ne baliguza Misuseera Mukasa.

Lugonvu yagambye nti mu 2013, nnamwandu yamuguza wabula ng'okuva lwe yagula tafunanga mirembe nga buli kiseera abeera mu kkooti ssaako ne poliisi nga bamuloopye, kyokka ekyennaku bwe yagenda e Kibuli bamuggyako sitetimenti wabula nga tewali musango gwamuggulwako ng'era bwe kyali ne ku poliisi e Mukono.

Baamukozesa sitetimenti wabula fayiro bwe yagenda ew'omuwaabi wa Gavumenti n'agigoba. Lungonvu annyonnyoddenti baatuuka n'okugenda ku CPS e Kampala nga December 10, 2018 ne batuula mu lukiiko n'omudumizi wa poliisi mu Kampala Metropolitan Moses Kafeero eyasaba Lwakataka okufuna ebiwandiiko bya kkooti ebirala kubanga bye yalina byali biweddeko era ne bamulabula obutaddamu kusaalimbira mu kifo ekyo.

Yagambye nti ettaka Lwakataka ly'akaayanira ssi lirye wabula lyali lya kitaawe wa Lwakataka omuto, omugenzi Kiggundu nga nnamwandu n'abaana baasalawo okutunda ebintu byabwe nga bakkiriziganyizza, ekintu ekitaasanyusa Lwakataka n'atandiika okukaayana.

Joseline Namanya ng'ono gwe baayonoonedde ekikomera yategeezezza ng'ensonga za Lwakataka n'ekifo bye yagula bwe byamutuuka edda ku mutima era nga talina bingi by'asobola kwogera kyokka n'akakasa nga bwe bagguddewo omusango ku poliisi e Mukono era mu kiseera kino n'omusibe gyakumiirwa. Namanya yategeezezza nti poliisi okuva e Mukono etuuse mu kifo kino okwekenneenya embeera n'ebaako by'ezuula.

Lwakataka ne banne abaamazeemu omusubi bagguddwaako omusango gw'okwonoona ebintu ku fayiro nnamba SD: 88/12/1/2019 ku poliisi e Mukono. Wabula kaweefube w'okwogerako n'aduumira poliisi y'e Mukono, Rogers Sseguya, agudde butaka oluvannyuma lw'okutuuka ku ofiisi ye nga taliimu ate nga n'essimu ze tuzigezezzaako nga takwata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...