TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwala omulala alumirizza Sheikh Umar okumuzaalamu

Omuwala omulala alumirizza Sheikh Umar okumuzaalamu

Added 14th January 2019

SHEIKH Umar Kamoga 29, omusomi w’edduwa e Nansana ali ku mmeere e Luzira mu kiseera kino, ebintu byongedde okumwononekera, omuwala omulala bw’avuddeyo n’amulumiriza okumuzaalamu omwana kyokka n’agaana okumulabirira.

 Sheikh Umar nga bimusobedde.

Sheikh Umar nga bimusobedde.

Whitney Nagadya 20, omutuuze w'e Nansana-Wamala bwe yategedde nti Umar asindikiddwa e Luzira ku by'okufera obukadde 16, n'abissaamu engatto okugenda ku poliisi e Nansana n'alumiriuza Umar bwe yamuzaalamu omwana oluvannyuma n'amusuulawo era ng'abadde yamulabula obutabaako ky'ayogera ku bibakwatako.

Nagadya yategeezezza nti omwana gwe yazaala kati awezezza emyezi 8 naye okuva lwe yazaalibwa Umar tamuwanga yadde ku buyambi ssaako okwebalama okusasula ssente z'eddwaaliro gye yazaalira ate nga ye talina mulimu gw'akola.

Yagguddewo omusango ku Fayiro nnamba SD REF 51/10/01/2019 ku poliisi ye Nansana ng'avunaana Umar okumusuulawo.

Nagadya yeegasse ku muwala omulala Mariam Nakyanzi naye Umar gwe yazaalamu omwana n'amusuulawo era ng'ono ensonga ze okutereezebwa, Minisita akola ku nsonga z'abaana n'abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi yamala kuziyingiramu ng'omusango gwe essaawa yonna omulamuzi wa kkooti ye Nabweru, Esther Rebecca Nasambu agenda kutandika okuguwulira.

Nakyanzi nga tannatwala Umar wa Minisita Nakiwala, yasooka kwegaana mwana we gwe yazaala mu Fatumah Najjuma omutuuze w'e Kawempe Kirokole era ono oluvannyuma yafa n'aziikibwa mu limbo e Nkoowe- Wakiso.

Umar abadde akyatuuyana na bya kuzaala mu bawala n'abasuulawo, ate Thomas Sikoyo omutuuze w'e Ganda-Nsumbi n'addukira ku poliisi y'e Nansana ng'agitegeeza nga Umar bwe yamufera n'amubbako obukadde 16 ng'amutegeeza nga bw'agenda okumusomera dduwa afunemu obukadde 32.

Omulamuzi wa kkooti ye Nabweru, Esther Rebecca Nasambu yamusindise e Luzira ku Lwokutaano okumala wiiki 3 era nga waakuddamu okulabikako mu kkooti nga February 1, 2019 lwe guddamu okuleetebwa mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.