TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulabirizi Mutebi atwaliddwa Bungereza; banoonya kawumbi

Omulabirizi Mutebi atwaliddwa Bungereza; banoonya kawumbi

Added 15th January 2019

Omulabirizi Mutebi atwaliddwa Bungereza; banoonya kawumbi

 Ssaabalabirizi wa Uganda, Stanley Ntagali (ku ddyo) lwe yatuuza Mutebi ng’Omulabirizi omubeezi ow’Obulabirizi bwa Kampala.

Ssaabalabirizi wa Uganda, Stanley Ntagali (ku ddyo) lwe yatuuza Mutebi ng’Omulabirizi omubeezi ow’Obulabirizi bwa Kampala.

Omulabirizi Hannington Mutebi 59, atwaliddwa Bungereza okumujjanjaba mu ngeri ey'ekikugu oluvannyuma lw'okumuzuula ng'alina kkansa w'omu musaayi ayitibwa Leukemia. Agenda kukyusibwa obusomyo mu magumba (bone -marrow transplant) era obujjanjabi bwetaagisa akawumbi ka ssente kalamba (obukadde 1,000).

Yatuuse mu kibuga London ekya Bungereza ku Ssande ng'ali ne mukyala we Maama Milly Mutebi. Ensonda zaategeezezza nti eggulo ku makya baamututte mu bakugu mu ddwaaliro lya King's College Hospital okumukebera byonna ebyetaagisa (tests) balyoke batandike okumujjanjaba.

Rt. Rev. Mutebi, Omulabirizi omubeezi ow'Obulabirizi bwa Kampala yazuulibwa mu September omwaka oguwedde ng'alina kansa w'omu musaayi. Obulwadde bwazuulwa abakugu mu ddwaaliro lya Aga Khan Hospital e Nairobi kyokka Bukedde bwe yafulumya amawulire ago gaawakanyizibwa nti yali "wolokoso" (fake news).

Kyokka omwezi oguwedde Omulabirizi yeeyongedde okugonda. Nga December 20, 2018, yabadde waakubuulira ku mukolo gwa muganda we Kaddu eyajaguzza emyaka 25 mu bufumbo mu kusaba kw'okwebaza okwabadde e Wampewo-Gayaza, wabula yalemeddwa kubanga yabadde munafu n'asaba Ssaabadinkoni w'e Gayaza, Can. Silas Musoke y'aba abuulira.

Mutebi mwannyina wa Maama Geraldine Kauma mukyala w'omugenzi Omulabirizi Kauma. Bwe baasitudde okugenda e Bungereza baabadde balina kusookera mu kifo ekimu bongere okumukebera era nga baabadde babasabye pawundi 16,000 ezitandikirwako.

Wabula Maama Mutebi yaweerezza obubaka ng'agamba: Tutuuse bulungi leero ku Ssande ku ssaawa nga 7 ez'emisana. Tukyusizzaamu tetugenze mu kifo kiri gye baatusabye paundi 16,000. Tugenda mu King's College ku Mmande bamukebere. Abooluganda twagala okubeebaza okutusabira n'olw'obuwagizi bwonna bwe mutulaze, olw'okutwagala.

Tutuuse bulungi e London, omukono gwa Mukama gubadde naffe era gukyali wamu naffe. Twesiga Katonda kubanga okuva olubereberye abadde wamu naffe ye takyuka. Tukkiriza Katonda kubanga alina obuyinza, amaanyi era awonya. Naffe tusazeewo okumwesiga newankubadde nga twolekedde olusozi olulabika nga lunene naye tumanyi nti ye bw'alabika atuula ku nsozi ne zisaanuuka era n'aziseeteeza. Tubeebaza nnyo omukwano n'obuwagizi bwonna.

Nga twewombeese, tukkiriza nti Katonda abakozesezza bino n'amaanyi ge mutaddemu tegafudde busa. Mwebale kutambula naffe mu lugendo luno oluzibu, tutandikira ku King's College Hospital olwo abasawo kye banaatugamba okuzzaako kye tujja okukola.

Mukyala Mutebi obubaka yabuweerezza abaakakiiko akaateekeddwaawo okusonda ssente akawumbi kamu okufuna obujjanjabi. Sentebe w'akakiiko ye Robert Ssekidde eyakazibwako SEROMA ate mukazi we Margaret Ssekidde ye muwanika ng'amyukibwa Peninah Byarugaba.

Dr. Nandi Mutema ye muwabuzi ku by'obujjanjabi ate Ssentebe wa Kwagalana Godfrey Kirumira y'akulira okukunga abantubaweeyo ssente. Abalala abali ku kakiiko ye Emmanuel Katongole owa Quality Chemicals, Guster Lule Ntake, Vivian Igundura ne Jimmy Mugerwa. Bagguddewo akawunti abantu kwe basobola okuteeka obuyambi: eya ssente za Uganda eri mu mannya ga Mutebi Milly Kisaakye 9030000450544 mu Stanbic Bank ate eya doola Baclays Bank 6006099643.

Mobile money ku 0780758458 ne 0703847820 mu mannya ga Peninah Byarugaba. Olukiiko olwasoose okutuula baasonze 43, 500,000/- ez'obuliwo ate ensuubize obukadde 62. Ddoola baasoze 5,800 mu buliwo ate ensuubize ddoola 5,000. Paund za Bungereza baasonze 1,300 mu buliwo ne 500 ensuubize.

Kirumira yatandise dda okunoonya ssente. Omusuubuzi Ephrahim Ntaganda ye yasoose okumuwa 2,000,000/-.

OMULABIRIZI MUTEBI Y'ANI lYazaalibwa mu 1960. Bazadde be, Daudi Nsubuga ne Christine Scofield Nalukenge (bagenzi) mu Kito Kasangati mu disitulikiti y'e Wakiso. lYasomera Kibanga, Wampeewo Primary School ne Old Kampala S.S.S. lYasoma ebyeddiini n'afuna satifikeeti mu Bishop Tucker Theological College e Mukono mu 1986

. lYafuuka omwawule nga June 3, 1990, Omulabirizi Misayiri Kauma ye yakulemberamu omukolo ogwo. lYatumibwa okuweereza ku kkanisa y'e Bunamwaya. Eno gye yava n'alondebwa okubeera viika wa Lutikko e Namirembe, ekifo kye yabeeramu okutuuka mu 1995.

lYafuna ddiguli mu byeddiini mu yunivasite ya Daystar University e Kenya. lYeeyongerayo mu Trinity Episcopal School oba Trinity School for Ministry e Pennyslavia mu Amerika n'ayongera okukuguka mu buweereza. lYaweereza mu bifo okuli; St. Luke Kibuye, St. Stephen Kisugu ne All Saints Cathedral mu Kampala.

lMukyalawe ye Milly Mutebi baatuuzibwa ku bumyuka bw'Omulabirizi wa Kampala November 10, 2013. lYe mumyuka w'Omulabirizi wa Kampala asoose okuva mu Buganda, okuva mu 1972 Obulabirizi bwa Kampala lwe bwatandikibwawo. lYadda mu bigere by'Omulabirizi Zac Niringiye eyawummula June 2012.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...