TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri 'Sure Deal' gye yalwanye okuva mu kkomera e Luzira

Engeri 'Sure Deal' gye yalwanye okuva mu kkomera e Luzira

Added 15th January 2019

Engeri ‘Sure Deal’ gye yalwanye okuva mu kkomera e Luzira

 Namwanje amanyiddwa nga Sure Deal.

Namwanje amanyiddwa nga Sure Deal.

SURE Deal yalwanye okuva e Luzira gye yasuze ennaku ssatu! Baamutwalayo ku Lwokutaano oluvannyuma lw'okukwatibwa ab'ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) Maria Prossy Namwanje amanyiddwa ennyo nga Sure Deal olw'ebizigo by'akola, yasooka kutuuyana ku Lwakutaano nga bamusomedde emisango gy'okukozesa "sitiika" z'ekitongole kya UNBS ku bizigo bye ng'ate tebamuwanga lukusa.

Yagezaako okusaba okweyimirirwa wabula ne bigaana, ne bamusindika e Luzira. Okuva ku Lwokutaano akawungeezi, abantu be babadde basala ntotto okumuggya mu kkomera. Baakozesezza bannamateeka abawerako ne bassaayo okusaba nga baagala omuntu waabwe aleetebwe eggulo mu kkooti era kkooti n'ebakkiriza.

Sure Deal yatuusiddwa mu kkooti ku ssaawa nga 8:00 ez'olweggulo ne bamuyingiza mu kaguli ka kkooti ya Buganda Road mu Kampala ne bamusimba mu maaso g'omulamuzi Gladys Kamasanyu.

Omusango yagwegaanye era n'asaba okweyimirirwa awoze ng'ava bweru. Okusinziira ku b'ekitongole ky'omutindo aba UNBS ebimu ku bizigo Namwanje by'abadde atunda bibadde tebinnayita mu kasengejja kutuuka kuweebwa sitiika eno kyokka nga ye agikozesa mu ngeri ey'olukujjukujju.

BABA SALIDDE OBUKADDE 100 Namwanje ng'asaba okweyimirirwa yategeezezza omulamuzi nti alina abaana ab'okulabirira n'obuvunaanyizibwa obw'enjawulo ng'ebbanga ly'akoma ng'ali mu kkomera kigenda kukosa bangi. Yaleese abooluganda lwe basatu abamweyimiridde ku bukadde100 ezitali za mu buliwo ate ye n'alagirwa okusasula obukadde bubiri ez'omu buliwo.

Oludda oluwaabi lwategeezezza nti okunoonyereza kunaatera okuggwa omusango ne gwongezebwayo okutuusa nga February 6, 2019. Ono si ye mutabuzi w'ebizigo asoose okuvunaanibwa omusango gw'okukozesa sitiika za UNBS nga tayise mu mitendera mituufu. Omwaka oguwedde, Fiona Namawejje amanyiddwa nga Aunt Lususu naye baamuvunaana omusango gwe gumu era gunaatera okutandika okuwulirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Erias Lukwago ng’amenyeka omuziki oluvannyuma lw’okuwangula obwa  Loodi Mmeeya ekisanja ekyokusatu.

Ebyewuunyisa mu kalulu ka K...

OKULONDA kwa Loodi Mmeeya ne bakkansala mu Kampala kubaddemu ebyewuunyisa, abalonzi bwe baalonze FDC Erias Lukwago)...

Irene Nanyanzi Mwebe owa NRM yawangudde Lukaya TC.

Aba NUP beefuze obwakkansala

OKULONDA bakkansala ab'ekibiina kya NUP baakwefuze. E Mukono mu magombolola gonna agakola disitulikiti eno okuli...

Omugenzi Omusumba John Baptist Kaggwa

Omusumba Kaggwa ebintu by'a...

KLEZIA efulumizza n'okulambika enteekateeka z'okuziika Omusumba w'e Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa eyafudde...

Judith ne Rev. Tugumehabwe lwe baagattibwa mu bufumbo Obutukuvu.

Obwenzi bwe bwatabula Judit...

Kigambibwa nti ekimu ku byatabula Judith ne Christopher ye mwawule okufuna oluvuuvuumo ku by'obwenzi bwa mukazi...

Ntagali ne Judith

Eyasudde Ntagali abadde n'a...

OMUKAZI eyasudde Dr. Stanley Ntagali mu bizibu ayogerwako ng'atali mwangu. Abadde acanga abasajja nga kigambibwa...