TOP

Eyatta omujaasi bamukwatidde Nebbi

Added 15th January 2019

Eyatta omujaasi bamukwatidde Nebbi

 Rwothungeo

Rwothungeo

POLIISI ekutte omukuumi w'ekitongole ky'obwannannyini eyakuba omujaasi wa UPDF essasi eryamuttirawo n'agitegeeza nti, omujaasi ye yamusosonkereza nga naye teyalina kyakukola n'amukuba essasi.

Dickson Rwothungeo 28, ow'ekitongole kya Security Afrika Group kigambibwa nti, nga November 23, 2018 ku ssundiro ly'amafuta erimu e Mbuya, yakuba omujaasi George Ogwang essasi eryamuttirawo. Bwe yakwatiddwa n'atwalibwa ku poliisi ya Jinja Road, Rwothungeo yagambye abaserikale nti, Ogwanga ng'ali ne munne ku pikipiki, baasimba ku ssundiro ly'amafuta ng'ali ku mulimu Ogwang yatandika okumucookereza nga bw'amugamba nti, ‘mpa emmundu yo ndabe omanyi mwe emmundu ze mukwata temubeera masasi ziba za kutiisatiisa'.

Yagambye nti, yasirika n'amwesonyiwa. Mu ddakiika ntono, yagambye nti waliwo mmotoka eyali ereese amafuta nga ddereeva ayagala kuyitawo kyokka nga pikipiki ya Ogwang ne munne eri mu kkubo.

Yagasseeko nti ddereeva bwe yakuba engombe Ogwanga ne munne bamuviire ayitewo, ne batamufaako. Yagambye nti bwe yabatuukirira n'abasaba baggyewo pikipiki, ne beerema era awo olutalo we lw'ava Ogwang bwe yamuwujja oluyi era naye mu kwetaasa n'amukuba essasi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Lucas Owoyesigyire yagambye nti, Rothungeo baamukwatidde Parambo mu disitulikiti y'e Nebbi gye yali yaddukira oluvannyuma lw'ettemu lye yakola. Yagambye nti, baamugguddeko omusango gw'obutemu ku fayiro SD 30/23/11/2018 ku poliisi y'e Mbuya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...