TOP

Poliisi etaasizza asaasaanya ebicupuli

Added 15th January 2019

Poliisi etaasizza asaasaanya ebicupuli

POLIISI y'e Ttula etaasizza omuwala ku batuuze ababadde bamukuba nga bamulanga kusaasaanya ssente ez'ebicupuli ku kitundu.

Resty Nakalule 24, ow'e Kawempe Mbogo ng'alinamu n'edduuka lya Mobile Money, ku Lwomukaaga poliisi y'e Ttula yamuwonyezza ku bbinja ly'abantu eryamukkakkanyeeko ne limukuba nga kigambibwa y'omu ku bagenda basaasaanya ebicupuli mu kitundu kyabwe.

Nakalule okumukwata yabadde agenze ku Mobile Money ya Derrick Kagimu e Ttula okumpi n'essomero lya Midland n'aggyayo obupapula bwa 50,000/ ng'awamu zaabadde emitwalo 40 n'asaba Kagimu azimuteere ku ssimu ye wabula Kagimu olwazeetegerezza nga bicupuli n'ayita abantu ne bafunza Nakalule ne batandika okumukuba.

Nakalule yategeezezza nti yabadde tamanyi nti ssente z'alina bicupuli. Yagguddwaako omusango ku SD: 12/12/01/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...