TOP

Bassentebe ba LC3 bagenda kufuna pikipiki

Added 15th January 2019

BASSENTEBE ba LC3 bonna mu ggwanga bagenda kuweebwa pipikipi okulondoola pulojekiti za gavumenti eziri mu bitundu byabwe kiyambe gavumenti okutuusa obuweereza ku bantu.

 Minisita Namuyangu n'omukungu Kumumanya nga bali mu lukung'aana lwa bannamawulire

Minisita Namuyangu n'omukungu Kumumanya nga bali mu lukung'aana lwa bannamawulire

Minisita w'eggwanga owa gavumenti z'ebitundu Jennipher Namuyangu yagambye nti minisitule ye egenda kumaliriza entegeka zino ezigenda n'okuzingiramu disitulikiti empya 16 ezaakatondebwawo.

Mu mwaka gw'ebyensimbi ogujja ogutandika June 2019 ba meeya ba munisipaali 41 bagenda kuwebwa emmottoka.

Bino yabyogeredde asisinkanye ba CAO ne Batawuni kiraaka mu munisipaali eziri mu Uganda olwabadde ku Hotel Africana mu Kampala.

Yagambye nti omwezi gwa June we gunagwerako ba ssentebe ba LC3 bajja kuba bamaze okufuna pikipiki.

Yasabye abakulembeze b'omu gavumenti z'ebitundu okukola pulaani ebitundu byabwe kwe bikulira  kuba ebibuga bigenze bigaziwa ku sipiidi ya kizungirizi.

‘'Tulina okutegeka engeri ebibuga gye bigenda okukulakulanamu. Uganda erina ebibuga 41 ebiri ku ddaala lya munisipaali na tawuni kanso 426 era waliwo entegeka ez'okubifuula ebibuga ebinene (cities) mwenda.

Omuwandiisi w'enkalakalirira mu minsitule, eno Benjamin Kumumanya yagambye nti munisipaali ezimu ziremeddwa okuwereza obulungi abantu.

N'agamba nti abakungu ba gavumenti abalemeddwa okuwereza obulungi abantu okugeza abalemesa emisaala okutuuka amangu ku bakozi, abazaayo ssente z'okukola enguudo mu ggwanika ly'eggwanga nga tezikoleddwa n'abalala bajja kukangavvulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

MARTIN Dorcus Mbabazi agamba nti ababadde bamuyita ekidomola oba ekikere olw’enkula ye kye kiseera bategeere amaanyi...