TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akakiiko k'ettaka kakunyizza mukyala Mukula n'atuuyana

Akakiiko k'ettaka kakunyizza mukyala Mukula n'atuuyana

Added 16th January 2019

Akakiiko k'ettaka kakunyizza mukyala Mukula n'atuuyana

 Gladys Mukula ng'ali mu kakiiko k'ettaka

Gladys Mukula ng'ali mu kakiiko k'ettaka

AKAKIIKO akabuuliriza ku mivuyo gy'ettaka kakunyizza mukyala wa Capt. Mike Mukula, Gladys Mukula ku by'okubba ettaka ly'omukadde Rose Mary Nabukenya e Kagugube n'apondooka n'ategeeza nga bw'ali omwetegefu okutuula ateese naye.

Mukyala Mukula obwedda ayogera nga n'ebiyengeyenge bimujja yategeezezza Omulamuzi Catherine Bamugemereire nti yalina enteekateeka y'okuzimba ekizimbe ku ttaka lino lye yagula naye Nabukenya amulemesezza okulikulaakulanya kuba aliremeddeko nti lirye. Ettaka lino liri Kagugube - Makerere ku bbuloka 9 poloti 360 nga lya bunene bwa yiika 0.32 era ku poloti yennyini Mukula gye yagula Nabukenya kw'alina amaka mwabadde abeera okuva mu myaka gye 70.

Mukula yagambye nti ettaka yaligula obukadde 60 mu 2015 okuva ku Betty Lumu muwala w'eyali minisita w'ebyobulamu eyasooka Dr. Emmanuel Lumu. Kyokka Nabukenya bwe yali alumiriza Mukula yategeeza akakiiko nti mu myaka gy'e 1970, Lumu yazinda awaka we n'ababbako ebiwandiiko byonna ebikwata ku ttaka lino n'alitemamu nga bw'alitunda n'okugabira abaana be okuli ne Betty. Nabukenya alumirizza nti ettaka lyali lya maama we omugenzi Nnaalongo Maria Luwiza Ssenyonga lye yagula ku ssente 25,000/- mu 1953 okuva ku Eriab Nsubuga.

Bwe yabuuziddwa obanga bwe yali agula ettaka teyalabako nnyumba ya Nabukenya mu kifo kye baali bamuguza, Mukula yagambye nti Betty bwe yali amulambuza yamugamba nti Nabukenya musenze ku ttaka nga kitaawe Dr. Lumu yamuvunaanyizibwako era bw'abanga atuuse okukozesa ettaka lye bajja mulagira aliveeko.

Mukula yagambye nti bwe yali akyusa ekyapa okukizza mu mannya ge ekyapa ekikadde kyali kibuze n'asaba bamukolere ekiri sipeeso kyokka mutabani we bwe yakitwala mu banka afune looni, ssente zaabalema okufuna kubanga Nabukenya yali ataddeko envumbo ng'agamba nti ettaka lirye.

Yannyonnyodde nti Nabukenya yamuwawaabira mu Kkooti Enkulu omusango Nabukenya n'aguwangula era kkooti n'eragira ekyapa kye (Mukula) kisazibwemu kizibwe mu mannya ga Nabukenya. "Looya wange yalina kyekubiira nga Nabukenya amusuubizza ettaka singa awangula omusango y'ensonga lwaki kkooti bwe yampitanga neewozeeko nga looya tantegeeza.

Nafuna balooya abalala ne tuddayo mu kkooti Omulamuzi Ajij n'ayimiriza ebyokunzigya ku kyapa oluvannyuma lw'okutuuka ku nzikiriziganya ne Nabukenya omusango guddemu okuwulirwa", Mukula bwe yagambye. Wabula Nabukenya agamba nti Mukula yapanga omuntu amanyiddwa nga Kibalama n'alimba nti nali muwadde obuyinza okumukiikirira mu kkooti n'ateeka omukono ku nzikiriziganya nti omusango guddemu.

Kamisona George Bagonza yabuuzizza Mukula nti ku ssente z'olina lwaki tokakkanamu katono n'oteesa ne Nabukenya ne mubeera mu mirembe kubanga ne bwonoozimba ekizimbe eky'amaanyi ng'oli mu ntalo tojja kuba musanyufu. Mukula yagambye nti kati mwetegefu okutuula ne Nabukenya bateese kubanga embeera eriwo agikooye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...