TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Uhuru Kenyata ayogedde eri eggwanga oluvannyuma lw'okulumbibwa abatujju

Pulezidenti Uhuru Kenyata ayogedde eri eggwanga oluvannyuma lw'okulumbibwa abatujju

Added 16th January 2019

Pulezidenti Uhuru Kenyata ayogedde eri eggwanga oluvannyuma lw'okulumbibwa abatujju

 Pulezidenti Uhuru Kenyata ng'ayogera

Pulezidenti Uhuru Kenyata ng'ayogera

PULEZIDENTI Uhuru Kenyatta akakasizza nti abantu 14 bebattiddwa mu bulumbaganyi obwakoleddwa abatujju ba Al shabab ku DusitD2 hotel e Westland mu Nairobi.

Uhuru agambye nti ebitongole by'ebyokwerinda bisobodde okutaasa abantu 700 bebaggyeyo nga balamu kyokka abakoseddwa bali mu malwaliro bajjanjabibwa.

Agambye nti enkya ya leero akedde kutuuza lukiiko lwa byakwerinda olw'okuntikko lw'akubirizza. Bagenda kuyigga buli eyeetabye mu lukwe luno; okuteekateeka, okuteekamu sente n'abo abaalumye babakoleko.

Okusinziira ku minisitule y'Amerika ey'ensonga z'ebweru, abaafudde kuliko munnansi wa Amerika wabula waliwo ne bye babadde tebannaba kukakasa nti ne munnansi wa Bungereza yafiiriddemu.

Abamu ku benganda z'abantu abaakwatiddwa mu bulumbaganyi bakyasobeddwa kubanga abantu baabwe teboogeddwa mu baafudde so nga n'essimu zaabwe teziriiko.

Olunaku Lwokubiri mu ng'essaawa zikunukkiriza okuwera 10, abatujju baalumbye Hotel eno ne basuula bbomu ku mmotoka ne zituntumuka omuliro.

Baasibidde abantu abamu mu bisenge ku hotel eno erina ebisenge 101 ne bakuba amasasi mwe battidde abamu.

Ng'abakulira eby'okwerinda bamaze okulangirira nti bamaze okutaasa abantu bonna olutabaalo luwedde, ate nga busasaana olwaleero emisinde gy'emmundu gyongedde okuwulirwa okumala ekiseera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....

Ekyatutte Paasita Bujjingo ...

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo...

Omugenzi Yiga yali ne Nabbi Omukazi.

Ebigambo bya pasita Yiga eb...

OMUSUMBA Augustine Yiga Abizzaayo ow’ekkanisa ya Christian Revival Church Kawaala abadde mwogezi akunkumula n’ennyenje...

Katikkiro Mayiga alabudde b...

'Mbakubiriza okuzannya eby’obufuzi eby’ekintu kiramu nga temusiiga bannammwe nziro wabula okutegeeza abantu enteekateeka...