TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agula emmaali y'omufu mu bukyamu lindirira muliro

Agula emmaali y'omufu mu bukyamu lindirira muliro

Added 18th January 2019

WADDE okufa tteeka naye kino tekikugaana kukola nnyo obeereko ebyobugagga by’olekera abantu bo ssinga Katonda abeera akujjuludde.

 Owookubiri ku kkono, Sheikh Muhammad Lunaanoba ng’abulira bamaseeka ku nsonga z’okukola ekiraamo.

Owookubiri ku kkono, Sheikh Muhammad Lunaanoba ng’abulira bamaseeka ku nsonga z’okukola ekiraamo.

Ate bw'obikola kikukakatako okulaamira aba famire yo engabanya yaabyo buli omu n'afuna ebibye.

Sheikh Muhammad Lunaanoba, omukulembeze wa Juma ne Zukuli mu Uganda era nga y'akulira bamaseeka mu ggwanga agamba nti: Omuntu yenna mu bulamu bw'ensi eno abeera alina obuyinza ku bintu bye byonna by'abeera yafuna mu ngeri zino essatu:

 Kye yafuna ng'akiguze buguzi ne ssente ze.

 Ekyo kye yasikira mu butuufu bwakyo ku muntu eyafa.

 Ekyo ekibeera kyamutonerwa. Noolwekyo omuntu bw'afa byonna by'abeera yafuna mu limu ku makubo ago abasika be eddiini b'ekkiriza babifuna oba babigabana mu linnya lye. Abasika abatuufu eddiini b'emanyi be bano:

Abazadde ababiri, abafumbo, omwami oba omukyala n'abaana.

Abaana bateekwa buteekwa okufuna ku mmaali y'omuntu abeera afudde.

Naye abafu oluusi balaama abantu baabwe abalala abalina okugabana ku bintu byabwe.

Kyokka eddiini egamba nti, bano bateekeddwa kuweebwa kw'ebyo ebyassibwa mu kiraamo kyokka era bw'aba omuntu bw'ati yalaamirwa okufuna omugabo omunene okusinga ku bafamire, eddiini tekikkiriza kukimuwa kubanga buli ali mu nsi akolerera famire ye.

Sulati Nisahi ennyonnyola ensonga eno:

Omuntu atalina muntu yenna amukwatako eddiini emukkiriza ebintu okubiraamira ediini ey'Obusiraamu n'asalawo gye biraga.

Wabula ssinga omuntu afa nga talaamye, abakulembeze mu ddiini batuula wamu n'abo abalina obuvunaanyizibwa ku mmaali ye ne bagigaba okusinziira ku mateeka ga Kulaani.

Omuntu ne bw'abeera alaamye naye ebintu ne biweebwa omwana akyali omuto, omukuza abivunaanyizibwako okubitereka obulungi n'abimuwa ng'akuze.

Waliwo abantu abalwanira ebintu by'abafu ebitaabaweebwa ne babyezza, bano Allah abalinze okubookya omuliro ogw'obugenderevu.

Kyokka era okutunda ebintu by'omufu ebikalu ka bibeere biggya kimu ku bitakkirizibwa era n'omuntu abiguze, obuguzi bwe tebukkirizibwa mu Busiraamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.