TOP

'Muntaase puleesa egenda kunzita lwa ttaka'

Added 18th January 2019

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku John Matovu agenda okumussa puleesa lwa kumutwalako ekibanja kye.

 Kigudde (ku ddyo) nga bamukwatiridde mu kakiiko k’ebyettaka.

Kigudde (ku ddyo) nga bamukwatiridde mu kakiiko k’ebyettaka.

Kigudde omutuuze we Katalemwa mu Kawempe yategeezezza omulamuzi Catherine Bamugemereire nti buli lw'alowooza ku kibanja kye Matovu kye yamutwalako oba okumulabako puleesa zimukubirawo era kati obulamu bwe buli mu lusuubo.

Kigudde yaabadde ssentebe we Katalemwa.

Yagambye nti takyajjukira gwe yagulako kibanja mu 1968 naye kiri ku ttaka lya Namasole Baagalayaze nga kuno Matovu kwe yamulumba n'ekibinja ky'abavubuka 40 ne basaawa ebitooke bye ne bamenya ekiyumba ky'embuzi n'effumbiro lye.

"Ekisinga okunnuma era ekinkubisa puleesa ly'ejjoogo lya Matovu.

Amabaati ge yaggya ku kiyumba ky'embuzi n'effumbiro n'emitti bye yakozesa okukola olukomera ku ttaka lye yanzibako," bwatyo Kigudde bwe yagambye akakiiko.

Kigudde yagambye nti tamanyi bunene bwa kibanja kye naye amanyi ensalosalo zaakyo kuba abaddeko okuva mu mwaka 1960 era kw'azaalidde abaana be 15 okutuusa 2017 Matovu bwe yajja n'ekyapa ng'agamba nti kati ettaka lirye.

Yannyonnyodde akakiiko nti yateeka envumbo ku kibanja kye naye nga Matovu ayita mu banene baagiggyako nga tebamuwadde nsonga yonna.

Yasabye akakiiko kamuyambe kalagire Matovu amuliyirire emmere yonna gye yasaawa n'ebintu bye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...