TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abafumbo babiri bakwatiddwa ku bigambibwa okutta omukuumi waabwe

Abafumbo babiri bakwatiddwa ku bigambibwa okutta omukuumi waabwe

Added 20th January 2019

Abafumbo babiri bakwatiddwa ku bigambibwa okutta omukuumi waabwe

 Poliisi ng'ezinzeeko amaka g'omwami n'omukyala Mike Bakabulindi ne mukyala we Phiona Nabayinda

Poliisi ng'ezinzeeko amaka g'omwami n'omukyala Mike Bakabulindi ne mukyala we Phiona Nabayinda

POLIISI ekutte ssemaka ne mukyala abateeberezebwa okubeera mu lukwe olw'okutta omukuumi waabwe.

Mike Bakabulindi Walabyeki omusuubuzi we ttaka ne Fionah Nabayinda abatuuze be Nabbingo Kigwanya zooni mu kiseera kino bakuumibwa ku poliisi ye Nsangi.

Bano okukwatibwa kyadiridde abatemu abatannategeerekeka okubayingirira ku Lwokutaano akawungezi ne batta omukuumi waabwe Elvis Nshimimana 26, ne bamenya ne nnyumba ne bakulita n'ebintu ebiwerako.

Abatemu nga tebannatemula Nshimimama basose kumusiba kandoya emikono n'amagulu omulambo ne bagusuula mu mbirizi z'ennyumba mu maaso ga kabuyonjo nga ne we gwasangiddwa wabaddewo omusaayi ekiraga nti wabaddewo okulwanagana nga tebannamutta.

Nabayinda yateegezezza nti yabadde agenze ku ddwaliro kugulira mwana we ddagala yagenze okudda awaka yasanze enkofiira ya Nshimimana eri ku ggeeti nga n'oluggi lwe manju lumenyeddwa n'ategeera nti ono yababye.

Yakubye enduulu eyasombodde abatuuze omwagidde ne poliisi kyokka bano olwokuba babadde bategeezeddwa nti omukuumi ye yamenye ennyumba tebatawanye kunoonyako bweru omulambo gye gwasuliddwa .

Omulambo gwazuliddwa Nabayinda ku Lwomukaaga ku makya n'atemya ku poliisi eyagututte mu gwanika e Mulago.

Omumyuka w'omugenzi  wa poliisi mu Kampala nemirirano Luke Oweyesigyire yakakkasizza okukwatibwa kwa bafumbo bano ng'okunoonyereza bwekugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...