TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni atongozza ekizimbe kya URA eky'emyaliiro 22 n'alabula abakozi ku buli bw'enguzi

Museveni atongozza ekizimbe kya URA eky'emyaliiro 22 n'alabula abakozi ku buli bw'enguzi

Added 20th January 2019

Museveni atongozza ekizimbe kya URA eky’emyaliiro 22 n’alabula abakozi ku buli bw’enguzi.

Museveni ng'asimba omuti ogw'ekijjukizo

Museveni ng'asimba omuti ogw'ekijjukizo

PULEZIDENTI Museveni atongozza  ekizimbe kya  URA ekya  URA  Towers  eky'emyaliiro 22 nga kyekikyasinga obuwanvu mu Uganda  n'alabula abakozi  ku  buli bw'enguzi ssaako n'okulagajjavu  mu kukebera eby'amaguzi ebiyingizibwa mu ggwanga.

Museveni  yagambye nti  abakozi ba URA ku nsalo za Uganda  n'amawanga ag''omulirano awayita  mmotoka  z'ebyamaguzi bateekwa  okuba  n'ebyuma ebitangaza buli kidduka okusobola okulaba buli kintu ekiri munda.

"Kyenjogerako nkimanyi okubasinga kuba  nnayingiza  emmundu okuva e Moshi okuzituusa mu Uganda  endalala mukwano gwange   omugenzi Gadaffi  yazimpa  mu  1985 n'enziyisa  e Bujumbura  ekya Burundi wabula nga  nzitambuza ku mmotoka okuyingiza mu Uganda ku nguudo," Museveni bweyagambye.

Museveni ku mukolo gw'okutongoza  ekizimbe kino e Nakawa ku Lwomukaaga yalagidde aba URA  okulaba nga basaba   minisitule y'ebyensimbi   ssente ezimala okuaaba nga  bagula ebyuma bino ebitaangaza  kuba  bwebataba nabyo  baba tebalina kyebakola okujjako okwerimba .

Nate yalagidde  URA  okwongera okulondoola  amadukanya amakampuni g'amasimu  ssaako ne Mobile Money okulaba nga si bbo bebabuulira ssente zebakunyanyizza   ez'okujjako musolo wabula  okulaba nga buli ssimu  ekubwa nga URA  yeegirondoola.

"URA  mulina okulaba nga  temumala budde  bwa basuubuzi oba  omuntu  yenna aba agenze okuwa omusolo kuba  abo  bebayimirizzawo eby'enfuina  y'eggwanga ," Museveni bweyagambye .

Yalagidde Doris  Akol akulira URA okulaba ng'agoba abo  balaba nga  bakyamu mu kitongole kino   n'agamba  nti yawalirizibwa okugoba Kamisona  mu kitongole  kuno eyali agezaako okulembe yinvesita  Omuchina  ng'akozesa omuyinza bwe  ng'okukulira eggwanga lino.

Ye Doris Akol yagambye nti  basobole  okulinyisa ssente zebasolooza mu musolo okuba mu buwumbi butaano  mu mwaka gwa 1986  ggavumenti ya  NRM bweyayingirira mu buyinza okutuuka  ku  buwumbu 16,000.

Yagambye nti   okumaliriza  ekizimbe kino kigenda kutaasa ssente obuwumbu musanvu n'ekitundu zebabadde  basaasanya  ku bupangisa  bw'ebizimbe   nga mu Kampala mwokka  okuli n'ekya  Crested  Towers

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...

Pulogulaamu y'ebigezo bya P...

GAVUMENTI efulumizza kalenda y’amasomero. Abayizi ba P7, S4 ne S6 bwe banaddayo nga October 15, olwo UNEB etandikirewo...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo guzzeemu okutojjera

Speaker Kadaga asanyukidde ...

OLUVANNYUMA lwa Pulezidenti Museveni okugya envumbo ku by’emizannyo olw’ekirwadde kya CORONA, okuzimba ekisaawe...

Abasuubuzi nga balaga sipiika bye batunda

Speaker asisinkanye abasuub...

SIPPIKA  wa palamenti  Rebeeca Alitwala Kadaga asabye abakungu b'ekitongole ky'omusolo URA okukomya okunyigiriza...

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.