TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti ereese etteeka erikugira abannanyini bizimbe okusasula abapangisa ensimbi mu ddoola

Gavumenti ereese etteeka erikugira abannanyini bizimbe okusasula abapangisa ensimbi mu ddoola

Added 20th January 2019

Gavumenti ereese etteeka erikugira abannanyini bizimbe okusasula abapangisa ensimbi mu ddoola

 Minisiter Chris Baryomunsi ng'annyonnyola ku tteeka lino

Minisiter Chris Baryomunsi ng'annyonnyola ku tteeka lino

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okutangira bannyini bizimbe  okusasuza abapangisa ssente mu ddoola.

Bino biri mu bbago ly'etteeka erigenda okulung'amya abapangisa ne ba landi loodi erimanyiddwa nga ‘' Land Lord and Tenants Bill,2018, eryayanjuddwa minisita w'eggwanga ow'ebyamayumba Dr. Chris Baryomunsi.

Ebbago werigidde nga waliwo okwemulugunya okuva mu bapangisa naddala abasuubuzi abakolera mu Kampala abeemulugunya ku kusasuzibwa ensimbi z'obupangisa mu ddoola wadde Uganda erina ensimbi zaayo entongole.

Abasuubuzi b'omu Kampala abeegatira mu kibiina kya KACITA gye buvuddeko beekubira enduulu mu palamenti nga baagala eyimirize omuze guno.

Kyokka okusinziira ku buwayiro mu tteeka okusasula ssente z'obupangisa kujja kukolebwanga oluvannyuma lw'okukaanya wakati wa nnyini kizimbe n'akipangisa. Era ng'okusasula ensimbi kwonna kulina kukolebwa mu ssente za Uganda okuggyako  nga waliwo okuteregana okw'enjawulo ate okuli mu matteeka wakati w'omupangisa ne landi loodi we.

Ebbago lino lyasindikiddwa sipiika Rebecca Kadaga mu kakiiko ka palamenti ak'ebyobuzimbe.

Ebbago era ligamba nti  nnyini kizimbe tajjanga kwongeza bisale okuggyako ng'amaze emyezi esatu ng'ategeezezza omupangisa we nti agenda kwongeza ssente z'obubapangisa.

Ebbago ligaana nnyini kizimbe okugamba omupangisa okusasula olumu ensimbi ezisussa mu myezi esatu. Omupangisa alina okulaga landi loodi ebiwandiiko ebimukwatako nga tanakirizibwa kupangisa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emirango n'ebiwoobe bibuuti...

Emirango n'ebiwoobe bibuutikidde lutikko e Lubaga mu kuziika Ssaabasumba Lwanga

Omukolo gw'okuziika Ssaabas...

Omukolo gw'okuziika Ssaabasumba Lwanga mu bifaananyi

Paapa alonze Bp. Ssemwogere...

Paapa alonze Bp. Paul Ssemwogerere, ow'essaza lya Kasana - Luweero okubeera Ssaabasumba w'essaza lya Kampala ow'akaseera....

Paapa akungubagidde Ssaabas...

Paapa akungubagidde Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ng'ono obubaka obukungubaga abutisse omubaka we mu Uganda,...

Omulangira Ssimbwa

Omulangira Ssimbwa eyasimat...

Omulangira Arnold Ssimbwa afudde. Ono ye Muzzukkulu wa Ssekabaka Muteesa II omukulu era y'omu ku baasimattuka akabenje...