TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okufa kwa maama kwammazeeko essanyu ly'okuyita ebibuuzo

Okufa kwa maama kwammazeeko essanyu ly'okuyita ebibuuzo

Added 21st January 2019

Nze Collins David Ssekandi nafunye obubonero 5, naye mpulira ennaku kuba mmange afudde talabye ku bye nnafunye ate nga bulijjo abadde abyesunga.

Essanyu ly'ebibuuzo lyampeddeko kuba yafudde wabulayo olunaku lumu ebibuuzo bifulume.

Ebibuuzo byafulumye tuli mu Klezia tusabira maama awummule mirembe.

Naye kyannumye nnyo okulaba nti bannange baabadde bajaganya nga nze ndi mu kukaabira maama wange kyokka n'ebirungi byonna byey ali ansuubizza okungulira nga nsomye bulungi byansubye kuba kati takyaliwo.

Kati nsaba kimu Mukama annyambe nsobole okusoma obusawo ntaase obulamu bw'abantu abalwala obulwadde bwa kookolo baleme kufa nga maama kuba obulwadde bumulumye nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...