TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abooludda oluvuganya baagala Gav't ewere eby'okusoma S.5 ne S.6

Abooludda oluvuganya baagala Gav't ewere eby'okusoma S.5 ne S.6

Added 21st January 2019

ABOLUDDA oluvuganya baagala gavumenti eggyewo eby’okusoma siniya ey’okutaano n’eyomukaaga ebisikize okutendeka abayizi mu misomo gy’emikono kye basuubira nti kijja kukendeeza ku bbula ly’emirimu.

 Akulira oludda oluvuganya Gavumenti, Betty Aol Ochan ng'aliko by'annyonnyola mu Palamenti gye buvuddeko

Akulira oludda oluvuganya Gavumenti, Betty Aol Ochan ng'aliko by'annyonnyola mu Palamenti gye buvuddeko

ABOLUDDA oluvuganya baagala gavumenti eggyewo eby'okusoma Ssiniya ey'okutaano n'eyoomukaaga ebisikize okutendeka abayizi mu misomo gy'emikono kye basuubira nti kijja kukendeeza ku bbula ly'emirimu.

Mu nkola eno ab'oludda oluvuganya bagamba nti omuyizi asaanye asome emyaka musanvu mu pulayimale, ena mu siniya , ebiri mu by'emikono n'obukugu obulala obw'emirimu gy'emitwe olwo abasobola beeyongereyo ku diguli ne dipuloma mu misomo gye baagala.

Bino biri mu kiwandiiko ky'akulira oludda oluvuganya  gavumenti mu palamenti Betty Aol ekikwata ku bbago lya bajeti egenda okusomwa  mu June 2019.

Aol agamba nti ensoma eriwo etwala obudde bungi ng'ekakatika mu bayizi endowooza za kufuna mirimu mu mawofeesi egitakyalabika ng'ekivuddemu ly'ebbula ly'emirimu.

Aol alaga nti ab'oludda oluvuganya  beenkengedde nti gavumenti eyinza obutayongoza misaala gy'abakozi baayo  mu bajeti egenda okusomwa mu June 2019 kuba ensimbi ez'okubongeza teziriimu.

Yategeezezza nti ensimbi z'okusasula abakozi ba gavumenti mu mwaka gw'ebyensimbi ogujja ziragiddwa mu bbago nti ziri obutabalika buna (4.2 trillion) ekitegeeza nti zigenda kusigala  nga  bwe zibadde mu bajeti y'omwaka guno nga tewali ssuubi lya kwongeza misaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...