TOP

Freeman awawaabidde Butebi ku poliisi

Added 22nd January 2019

ABAGAGGA Kiyimba Freeman ne Emmanuel Ssembuusi Butebi bongedde okutabuka. Katikkiro Charles Peter Mayiga ye yasooka okubatuuza batabagane ne bireme.

 Free Man ne Butebi

Free Man ne Butebi

Kati Freeman addukidde ku poliisi n'awawaabira Butebi okumutiisatiisa okumukolako obulabe.

Freeman era awawaabidde abasuubuzi munaana mikwano gya Butebi nti nabo bali mu lukwe lwa kumukolako bulabe.

Babiri ku basuubuzi bano abatutumufu mu Kikuubo n'e Mityana, poliisi yamaze dda okubakwata n'ebaggalira ku CPS. Abaaakwatiddwa ye Saulo Mayanja alina edduuka e Mityana mu kibuga ne Fred Kasaalu naye alina edduuka e Mityana ne mu Kikuubo.

Poliisi eragidde Butebi okweyanjula leero ku Mmande ku CPS. Ebbaluwa ya poliisi eyawandiikiddwa nga January 18, 2019, yalabudde Butebi nti bw'ateeyanjula bajja kumukwata. Ebbaluwa yassiddwaako omukono gwa Peter Kakonge abadde akulira Flying Squad.

Bino biddiridde obutakkaanya wakati wa Freeman ne Butebi obwatandikira ku kugula amaduuka ku Paaka ya takisi empya mu Kampala.

Freeman ye ssentebe w'abasuubuzi abazimba amaduuka ku Ppaaka abeegattira mu kibiina kya New Taxi Park Lock-Up Owners Association. Ate Butebi yagula amaduuka 22.

Freeman mukungu wa Kabaka era ssentebe w'olukiiko lwa Buganda Twezimbe ate Butebi naye mmemba ku lukiiko olwo era musuubuzi omututumufu mu Kikuubo n'e Mityana.

Bombi bava ku kyalo kimu Buswabulongo e Mityana. Butebi y'azaala omubaka Francis Zaake owa Munisipaali y'e Mityana.

BUTEBI AYOGEDDE

Butebi agamba nti obutakkaanya buva ku kuwakanya pulaani y'amaduuka n'emiwendo gy'okugazimba, akakiiko ka Freeman bye kassaawo ku buli dduuka.

Butebi agamba nti emiwendo gyali giyitiridde okuba waggulu so nga naye muzimbi amanyi ebyetaagisa okuzimba amaduuka.

Butebi agamba nti mu nteekateeka y'okuzimba amaduuka yalina okufuna amaduuka ge 22, ku mwaliiro ogusooka ku kizimbe ekyasooka okuggwa.

Wabula Freeman teyamuwaako dduuka lyonna. Baazimba ekizimbe ekyokubiri era n'atafunako.

Kati baamuwadde ku kyakusatu, kyokka yaweereddwa wansi mu Besimenti (basement) ne ku mwaliiro ogusembayo waggulu ye Butebi ky'agamba nti ebifo ebyo tebisikiriza bakasitoma.

Ate Butebi okufuna amaduuka ku kizimbe ekyokusatu, agamba nti Freeman yasooka kumukozesa ndagaano mu maaso ga Ssentebe w'abasuubuzi b'omu Kikuubo, Hajji Muhamad Katimbo nga Butebi yeetondera Freeman bw'atakyaddayo kumwogerako kalebule.

Butebi agamba nti mu ndagaano mwalimu okumukkirizisa okumusalako amaduuka okuva ku 22 asigazeeko 14. "Byonna nabikkiriza nneme kuviiramu awo", bwe yategeezezza Bukedde eggulo.

Butebi yagambye nti Katikkiro yabatuuza abatabaganye kyokka ne batatuuka ku kukkaanya.

ENSONGA ZAMPITIRIDDEKO - FREEMAN

Bukedde bwe yatuukiridde Freeman eggulo yagambye: ensonga zampitiriddeko ne nzitwala ku poliisi. Biri mu mikono gya baabuyinza.

Ebbaluwa ya poliisi eyita Butebi yagambye: Tufunye okwemulugunya kwa Freeman ng'omutiisatiisa okumukolako obulabe. Freeman agguddewo omusango ku fayiro GEF 039/2018.

Mikwano gya Butebi abalala abaweereddwa ebbaluwa ezibayita ku poliisi olw'okutiisatiisa Freeman kuliko; Daudi Malagala (Katikkiro w'Ekika ky'Embwa), Fred Nkuubi Bagave, Henry Lutaaya, David Kateesa, Godfrey Buwembo ne Ronald Kivumbi.

Bonna basuubuzi b'e Mityana wadde nga babalagidde kweyanjula ku CPS e Kampala.

Kigambibwa nti babadde bateeka obubaka ku mikutu gy'ebyempuliziganya okuli facebook ne whatsapp nga batiisatiisa Freeman.

Kiyimba amaze ekiseera ng'akuumibwa abemmundu nga kigambibwa nti yanyweza ebyokwerinda kwe oluvannyuma lw'okutiisibwatiisibwa.

Katikkiro okuyingira mu butakkaanya bw'abasajja ba Kabaka bano kyaddirira ebyali e Mityana bwe yali asolooza Ettoffaali.

Butebi yagaana okuwa Ettoffaali lye e Mityana oluvannyuma lwa Freeman okusembeza mukwano gwe Hajji Abbas Kalule Bakundula, kyokka bwe baali bavuganya ennyo ne Butebi.

Baali mu Kibiina ky'abasuubuzi ekya Mityana United Traders Association(MUTA) nga kikulirwa Bukandula ate Butebi nga y'amumyuka. Butebi yava mu Kibiina n'akola ekikye ekya Mityana Traders Association (MITA).

Butebi yalasalawo Ettoffaali erirye n'abawagizi be okulyetwalira e Mmengo. Kyokka bwe baatuuka ku Bulange baasooka kubaggalira bweru nti baali tebasuubirwa era ne babuuzibwa lwaki tebaliweerayo Mityana. Kino kyali kikaluubiridde aba Butebi kubanga Bukandula ye Ssentebe w'okusolooza Ettoffaali e Mityana.

Enteekateeka zaakolebwa Ettoffaali ne likkirizibwa okuweebwayo ku Bulange. Kyokka baasigala tebamatidde olwa Katikkiro obutasobola kubatikkula Ttoffaali n'abasindikira Minisita w'Ebyamawulire Noah Kiyimba.

OBUTAKKAANYA OKUSAJJUKA

Obutakkaanya bweyongera ku nkomerero y'omwaka oguwedde, Freemnan bwe yakulembera abadigize abaali ku lyato eryatta abantu be lyaggya e Ggaba ne libayiwa mu nnyanja okumpi ne Palm Beach.

Kigambibwa nti Butebi teyagenda kulaba Freeman wadde okumusaasira ekyalabwa nga Butebi obutayagaliza Freeman Kalungi konna.

Okwo kweyongerako abaatwala amawulire mu nkambi ya Freeman nti aba Butebi baali mu kujaganya olw'ebyeryato. Era aba Butebi baali bakola ekisoboka okulaba nga Freeman ayonoonebwa mu mawulire.

Wabula Butebi yagambye nti ekyamugaana okugenda ewa Freeman yali yakagendayo enfunda ssatu nga Freeman amugobera ku geeti.

Ku luno nnatya okuswazibwa nga bangobera ku geeti. N'agattako nti mu Buganda omuntu tayinza kwagaliza munne kibi era "nange saagaliza Freeman kibi

Wabula Freeman abeere mwenkanya obutanyigiriza Baana ba Nambi".

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Tumwesigye

Dokita aleppuka na gwa kuka...

OMUSAWO Wilson Tumwesigye 32, ono ng’akola gwa kukebera bakyala ba mbuto (Radiographer) mu ddwaaliro lya Kamwokya...

Abaana abaatomeddwa mmotoka nga batwalibwa mu ddwaaliro e Kawolo. Mu katono bwe babadde bafaanana.

Makanika abadde agezesa mmo...

MAKANIKA olumaze okukanika emmotoka n’agivuga emisinde n’emulemerera okukkakkana nga yeefudde n’etomera abaana...

maka ga ba Shimanya. Mu katono, ye Shimanya ne Kakai gwe yasse

Ow'ebbuba asse mukazi we ng...

OMUSAWO w'eddwaaliro lya IHK yakomyewo ku ssaawa 5:00 ez’ekiro era yasanze bba yatabuse dda! Bba yayongedde okuva...

Pulezidenti  wa DP Nobert Mao ng’ayogera mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala.

Ebizibu mu DP byeyongedde: ...

EBIZIBU byeyongedde mu DP, ekisanja kya Nobert Mao bwe kiweddeko wakati mu kuwakanyizibwa abamu ku bammemba okuli...

Erias Lukwago kisuubirwa ayinza okukwatira FDC enkasi singa Besigye tggyaayo mpapula kwewandiisa kuvuganya

Abaagala bendera ya FDC ku ...

ABA FDC bataddewo olwaleero n’enkya ku Lwokubiri nga nsalessale eri abaagala okukwatira ekibiina bendera ku kifo...