TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasomesa ab'ebulankanya mu masomero ga Gavumenti balabuddwa

Abasomesa ab'ebulankanya mu masomero ga Gavumenti balabuddwa

Added 22nd January 2019

Abasomesa ab'ebulankanya mu masomero ga Gavumenti balabuddwa

SSENTEBE we Ggombolola ye Nabweru Robert Maseruka Mute avuddeyo n'alabula abasomesa abayitilidde okwebulankanya ku masomero ne badda mukukola ebyabwe olwo abayizi ne bagaana okubasomesa.

Ssentebe Maseruka bwabadde akwasa abakulu ba masomero ga Gavumenti agali mu Ggombolola ye Nabweru eby'avudde mu bigezo bya PLE ebye kibina eky'omusanvu wano n'alabula abasomesa abatayagala kugenda mu masomero ne badda mu kukola ebyabwe olwo abayizi ne babeera mu kukuba embekuulo nga kino kivudde ku basomesa obutayagala kugenda ku masomero ekiviiriddeko abayizi okukola obubi.

Wabula bbo abakulira amasomero ga gavumenti nga bakulembeddwamu Joshua Bwire akulira essomero lya Kanyange P/S yateegeezezza nga oluusi ekiremesa abasomesa okukeera ku masomero bye butaba n'abizimbe webasula ate nga batambula ngendo mpaavu.

Era yasabye Gavumenti okubalowoozako okubazimbira ebizimbe ebilala kuba abaana bangi ate nga ebizimbe bitono ddala nga kino kiviriddeko okutabula abayizi nga n'abamu basomera wansi wa miti.

  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....